Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 31, olutuula nnamba bbiri olutudde e Bulange e Mmengo lwaniriza amawulire ku bulamu bwa Kabaka era neruwagira nnyo eky’okusoosowaza obulamu bwa Kabaka kuba ye Kitikkiro kya Buganda.
Olukiiko lutandise nakulayiza abakiise b’amasaza Ssaabasajja kabaka beyasiimye bamukulembereko amasaza munkyukakyuka ezakolebwa okubadde Deo Kagimu Mukwenda, Ssekiboobo Vincent Matovu , Kayima Sarah Nannono Kaweesi.
Abalala kubaddeko Kitunzi Fred Mugabi Williams, Luweekula Andrew Ssempijja Mukasa, Muteesa John Kankaka, Kasujju Israel Lubega Maaso, Mugerere Samuel Ssemugooma Ssengooba ne Kimbugwe Robert Ssonko Kabogoza era bano balayiziddwa Owek. David Mpanga kulwa Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika.
Oluvanyuma Minisita w’Olukiiko, Owek. Noah Kiyimba ayanjudde ebiteeso ebiyisiddwa nga byebino wammanga;
Olukiiko lwebazizza nnyo Katikkiro Owek.Charles Peter Mayiga olw’okwanjulira Obuganda embeera nga bweyimiridde n’engeri emirimu bwegitambula mu Bwakabaka bwa Buganda.
Abakiise era wamu awatali kwetemamu bavumiridde abantu abesenza mu bifo byentobazi ekiviriddeko obuzibu obwenjawulo n’okukosa obutonde bw’ensi ekitadde ebiseera by’eggwanga mu katyabaga.
Olukiiko luno era lusabye Gavumenti eyawakati okusoosowaza n’ebitundu bya Buganda ebisingamu abantu abangi n’okuvaamu omusolo omungi omuli ebitundu nga Kampala, Wakiso, Mukono ne Masaka wabeewo obwenkanya nemu miwendo gy’ababaka abakiikirira ebitundu ebyo, enguudo, amasomero n’amalwaliro.
Abakiise basembye ebitongole bya Gavumenti eyawakati naddala ebyokwerinda okuwa abasibe eddembe okumira eddagala lyabwe naddala abalwadde ba mukenenya n’abalwadde abalala ab’endwadde ez’olukonvuba.
Bano basabye Gavumenti eyawakati okwongera obuvujirizi eri amasomero ga bonnabasome gongere okweyunirwa abazadde okutwalayo abaana era nelukubiriza abazadde obutewanika nnyo ku masomero gabisale bya waggulu ekiyinza okubasuula mu mabanja nga banoonya ssente z’ebisale.
Abakiise era bavumiridde eky’abaana ba Buganda okuggwamu ensa nebatandika okuvvoola abakulembeze mu Uganda n’Obwakabaka awamu n’abakulu mu nzikiriza ez’enjawulo.
Olukiiko era lwagala abavubuka bonna abasibibwa olw’ebyobufuzi bayimbulwe era neruwagira kaweefube yenna aluubirira okulaba nti abasibe bayimbulwa.