Omutaka Nnamwama atongozza akazannyo “Atamukutte w’Abalungamya 2024” – kaakulagibwa butereevu ku BBS

Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka abakulu b’Obusolya, Omutaka Nnamwama Dr. Augustine Kizito Mutumba atongozza akazannyo “Atamukutte w’Abalungamya 2024” nga kano abantu mwebagenda okuvuganyiza mu bibuuzo eby’enjawulo ebigendereddwamu okuwawula obwongo bw’Abalungamya b’Emikolo n’ababawa emirimu era nga kaakulagibwanga butereevu ku BBS Terefayina buli Lwa Sande  wakati w’essaawa ttaano  ne mukaaga ez’omuttuntu.

Enteekateeka eno Omutaka Namwama agitongolezza ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka e Bulange – Mmengo era nga wano w’asunsulidde n’abantu 20 abagenda okuvuganya mu kazannyo kano. Omutaka Nnamwama asiinzidde wano n’akuutira abalungamya b’emikolo okwongera okutambulira ku Nnambika eyayisibwa Abataka mu kulambika omukolo gw’okwanjula, kikuume ennono n’ekitiibwa ky’omukolo ogwo.

Mu ngeri yeemu, Jjajja Namwama asabye abazadde obutalekera baana babwe buyinza mu kuteekateeka emikolo wabula nabo basseeyo omwoyo n’obuvunaanyizibwa nga agamba nti buli abazadde  lwebeebalama enteekateeka z’emikolo kiwa abaana ebbeetu okukola byebaagala ate oluusi ebikontana n’ennono.

Ssentebe w’abalungamya b’emikolo, Ismael Kajja ategeezezza nti enteekateeka ya ‘Atamukutte w’Abalungamya’ yaakubangawo buli mwaka nga kino kigendereddwamu kutereeza mikolo gya buwangwa naddala omukolo gw’okwanjula nga batandikira ku bekikwatako obutereevu.

Enteekateeka eno egenda kutandika ku Sande eno nga 12 May 2024, n’abavuganya 5 okuli; Kayondo Enock, Ssentamu Michael, Mubiru Grace Ronald ne Bulamba Joel era nga wateereddwawo ebirabo okuli Piki Piki kapyata, Ente, TV gaggadde n’ebirabo ebirala bingi.

Obwakabaka bwa Buganda bwasalawo okussa essira ku balungamya b’emikolo okutereeza entegeka n’enkola y’emikolo naddala ogw’okwanjula ogubadde gutandise okuva ku mulamwa nga abantu bagukoleramu ebikontana n’obuwangwa bw’abaganda.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *