Bya Ronald Mukasa
Kyaddondo – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alambudde ekizimbe ekiggya mu ddwaliro lye Mengo ekigenda okukola ku kujjanjaba obulwadde bw’amaaso nakuutira abantu okunoonya obujjanjabi mu bakugu.
Okulambula kuno Katikkiro akukoze ku Mmande nasiima omutindo eddwaliro kwerizimbiddwa era yeebazizza abaliddukanya wamu ne bannamukago aba Christian blind Mission abavujjiridde omulimu guno.
Bw’abadde ayogerako eri abakulira eddwaliro lino, Owek. Mayiga annonnyodde nti obulwadde bw’amaaso bukosa nnyo kubanga omuntu bwaba talaba aba yetaaga omuntu omulala alaba amuyambeko.
Ono abakubirizza okukomya obugayaavu kuba ebiseera bingi bafaayo ku ndwadde endala naye amaaso nebagatwala nga nsonga so nga nago geetaaga okubeera mu mbeera entuufu.
Kulw’Obwakabaka yeyamye okunyweza enkolagana nga basinziira mu mukago gwebaakola, nategeeza nti omuntu atali mulamu tasobola kwezimba ekintu ekinafuya enteekateeka z’okuzza Buganda ku ntikko.
Ow’omumbuga era asabye abatwala eddwaliro lye Mengo, bulijjo okukuuma ebyafaayo bye ddwaliro ng’ebizimbe binansangwa n’ebirala okusobola okumanya obuvo nobuddo bw’ekifo kino.
Akulira Eddwaliro lino Dr. Simon Peter Nsingo alambuludde ekigendererwa ky’okusaawo ekifo kino ekyenjawulo mu kujjanjaba amaaso.
Ono agamba kino kigendereddwamu okuwa abantu obujjanjabi obwa maaso obw’ekikugu, omuli okujjanjaba amaaso ag’ensenke, Pressure y’ amaaso, okugalongoosa n’ebirala bingi.