Bya Ssemakula John
Lubaga – Kyaddondo
Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule akubirizza abaana bulijjo okukuuma omukululo gwa bazadde baabwe gwebaleka nga bavudde mu bulamu bw’ensi.
Obubaka buno, Owek. Mugumbule abyogeredde mu Lutikko y’e Namirembe mukusabira omwoyo gw’Omugenzi Rebecca Joyce Nakibuuka Kizito, muwala w’omugenzi Geoffrey Samuel Kizito, era muzzukulu wa Ssenveewo Kizito nga bano baawereza nnyo Obwakabaka.
Mugumbule yeebaziza bazadde ba Nakibuuka okumukuza obulungi wamu ne baganda be, nga babazimbyemu empisa ez’obuntubulamu era agamba nti omukululo gwa bazadde baabwe bagutambuza bulungi.
Nakibuuka abadde mukozi mu kitongole kya UNBS, era bamutendreza olw’okuweereza obulungi ekitongole. Bano Oweek. Mugumbule abasabye okufaayo ennyo ku mutindo gw’ebintu ebitundibwa mu Uganda naddala ebiva ebweru w’Eggwanga.