Minisitule y'Ettaka n'Ebizimbe
Ministry of Lands and Properties

Minister
Oweek. David F.K Mpanga
1. Enyanjula
Bino byebikolebwa mu Minisitule eno:
a) Okuwabula Kabineti, Olukiiko lwa Buganda n’ebitongole by’Obwakabaka ku nsonga za Ssemateeka ezekuusa ku Bwakabaka bwaffe.
b) Okuteesa ne Gaavumenti eya wakati n’ebitongole byayo ku nsonga z’Ebyaffe n’okusa mu nkola Endagaano gyetwakola nayo mu 2013 (“Memorandum of Understanding, 2013”).
c) Okubanja Ebyaffe omuli ettaka, ebizimbe, Federal, ensimbi n’ebirala.
d) Okuwuliziganya n’Ababaka b’Olukiiko lw’Eggwanga Olukulu naddala abo abakiikirira ebitundu bya Buganda ku nsonga eziruma Obwakabaka wamu n’okuzisalira amagezi.
e) Omwaka guno twaayongerwako obuvunaanyizibwa obw’okuteekateeka Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 61 agaaliwo nga Kafumulampawu (April) 13, 2016 ku ssomero lya King’s College, Buddo mu Busiro.
2. Ebikoleddwa:
a) Twateesa n’Omukulembeze w’Eggwanga ne Gaavumeti ye (Attorney General, Minister of Justice & Constitutional Affairs, Minister of Lands n’ebirala) ku nsonga z’Ebyaffe e, Ntebe n’e Rwakitura era netukola Endagaano (“Memorandum of Understanding, 2013”) ekomyawo ebintu by’Obwakabaka ebitanatuddizibwa.
b) Awamu ne Ssaabawolereza twabaga era netuwaayo ebiroowozo by’Obwakabaka eri Parliament ya Uganda ku nnoongosereza (“constitutional reforms”) ezaali zigenda okukolebwa mu Ssemateeka wa Uganda nga zekuusa ku kifo kya Ssaabasajja mu Uganda, amateeka g’ettaka, okugabana obuyinza mu nfuga eya Federal, amateeka g’okulonda n’ebirala.
c) Twawabira Gaavumenti ya Uganda mu mbuga z’amateeka nga tuwakanya eteeka lya “Institution of Traditional or Cultural Leaders Act, 2011”. Tukyalindirira ensala y’Abalamuzi ba Kooti ya Ssemateeka.
d) Awamu ne Ssaabawolereza wa Buganda tuwoza omusango ogwawaawabirwa ab’e Bunyoro nga bawaaba Ssaabasajja Kabaka.
e) Wamu ne Ssaabawolereza w’Obwakabaka tuwabudde wamu n’okulambika Kabineti, Olukiiko, ebitongole by’Obwakabaka eby’enjawulo (Buganda Land Board, Nnamulondo Investments) n’Ebika ku nsonga za Ssemateeka ezitali zimu okugeza: ku kulonda okwakaggwa, ettaka, eddembe ly’obuntu, emitendera egigobererwa okugonjoola ensonga ezo n’ebirala.
f) Twabaga ekiwandiiko ekitongole ku Nsonga Ssemasonga Etaano ez’Obwakabaka era nekiweebwaayo eri Kabineti.
g) Twabaga ekiwandiiko ekitongole ekirambika Kabineti, Olukiiko n’Obuganda bwonna ku biki Obwakabaka byebusuubira mwabo abaali beesimbyewo mu kalulu akakaggwa.
h) Akakiiko k’Ebyaffe[1] kakola enteekateeka ez’okutuula okuteesa ne Gaavumenti eya wakati era kajja kwanjulira Kabineeti enteekateeka eyo ng’ewedde.
i) Akakiiko k’Ebyaffe era koongedde okubanja Gaavumenti eya wakati ebintu by’Obwakabaka ebikyasigalidde. Twafuna ebyapa 212 eby’ettaka ly’Obwakabaka era Buganda Land Board ebyekkaanya.
j) Akakiiko aka Federal[2] nako kakola enteekateeka ey’okutandika okufuna ebirowoozo okuva mu bantu ba Buganda era kajja kujanjulira Kabineeti ng’ewedde.
k) Twakulemberamu enteekateeka z’okujaguza Amazaalibwa ga Ssaabasajja ag’emyaka 61 wansi w’omulamwa“Kabaka Wange: Abavubuka Tuzze Bukula”.
l) Okusinga byonna twakulemberamu kaweefube w’okuddabiriza ekifo ky’obulambuzi eky’e Naggalabi Buddo, awatikkirirwa ba Kabaka ba Buganda.
Ennyumba Buganda Omulangira mwasula era mwagabira obwami nga tanatikkirwa.
Ennyumba Bwanika Omulangira wakolerwako emikolo egy’obuwangwa.
Ku Nakibuuka awatikkirirwa ba Kabaka ba Buganda.
m) Twaaniriza abantu ab’enjawulo abalina ebiroowozo ebirungi eri enfuga n’enkulaakulana y’Obwakabaka.
n) Tukola okunoonyereza ku byafaayo by’Obwakabaka ebyekuusa ku nsonga za Ssemateeka.
3. Byetulowooza okukola:
a) Okwongera okubanja Ebyaffe ebikyasigalidde mu mikono gya Gaavumenti.
b) Okumaliriza enteekateeka y’okufuna ebirowoozo by’abantu ba Buganda ku nfuga eya Federal.
c) Okwongera okunoonyereza ku byafaayo by’Obwakabaka ebyekuusa ku Ssemateeka.
d) Okukiriziganya ne Minisitule ya Ssaabawolereza wa Buganda ku pulojekiti zetuyinza okukolera awamu olw’okuweereza obulungi abantu ba Ssaabasajja.
e) Okukunga abantu ba Buganda ku mikutu egy’enjawulo omuli n’egy’Obwakabaka okujjumbira okuwaayo ebirowoozo byabwe ku nfuga eya Federal.
f) Okufunza ebirowoozo by’abantu ba Buganda ku nfuga eya Federal mu buwandiike n’okubyanjulira Kabineeti n’Olukiiko.
g) Okutegeka emisomo ku nsonga za Ssemateeka n’ebyobufuzi.
h) Okuyambako Minisitule ey’Okunoonyereza okufuna ebyafaayo by’Obwakabaka.
4. Okwebaza:
Twebaza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’obwesige bweyatutekamu okuweereza abantube era n’okutumbula embeera zaabwe. Era twebaza Katikkiro ne ba Minisita abatuyambye mu ngeri zonna okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale.
[1]Owek. Apollo N. Makubuya (Ssentebe), Owek. Amb. Bill Matovu, Omulangira David Kintu Wassajja ne Jonathan Mwesigwa Sekiziivu(Omuwandiisi)
[2]Owek. Apollo N. Makubuya (Ssentebe), Owek. David F.K. Mpanga, Owek. Eng. Martin Kasekende, Owek. Christine Mugerwa Kasule ne Jonathan Mwesigwa Sekiziivu (Omuwandiisi).