Katikkiro Mayiga alagidde bassenkulu b’ebitongole bya Buganda okwongera okuzimba enkolagana ennungamu wakati wabwe n’abakozi bebakulembera

Bya Francis Ndugwa

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga alagidde abakulira ebitongole mu Bwakabaka okwongera okuzimba enkolagana wakati wabwe n’abakozi babwe okusobola okutumbula emirimu olwo Buganda edde ku ntikko.

Okwogera bino, Owek. Mayiga abadde asisinkanye bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka ku kitebe ekikulu eky’ekitongole ky’Ebyobulambuzi mu Bwakabaka e Mmengo okuliraana Olubiri lwe Mmengo ku Lwokuna mu nteekateeka y’Eddiiro lya Bassenkulu.

” Ggwe ssenkulu olina okumanya abakozi, olina okubalungamya, abasobezza nobabonereza mu bwenkanya. Totyanga mukozi yenna era musiime nga akoze bulungi. Leka kwekengera bakozi nga olowooza nti ono ajja kutwalako omulimu,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.

Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti buli baweereza lwebatambulira awamu ebibasoomooza ebingi bisobola okugonjoolwa mu obwangu.

Bassenkulu abasabye okunyweeza Obumu n’Okuwagirangana, bayambeko mu nkulaakulana y’Obwakabaka eyannamaddala nga bayita mu kulowooleza ebitongole byabwe.

Mungeri yeemu abasabye baseewo enkolagana wakati wa bassenkulu b’ebitongole n’abakozi era ebeere nnung’amu kiyambe ebyo ebirina okukola amagoba okuyingiza ensimbi mu ggwanika.

Minisita w’Ebyobuwangwa, Ennono, Embiri n’Eby’okwerinda, Owek Anthony Wamala asabye enkiiko zonna ezitegekebwa ebitongole by’Obwakabaka zituulenga mu ddiiro lya bassenkulu b’Ebitongole ku kitebe ky’ebyobulambuzi, mu nkola y’Okuwagiragana, nga akamu ku bubonero bw’okuzza Buganda ku ntikko.

Ye Ssentebe wa bassenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka, era Ssenkulu wa Buganda investment and commercial Undertakings, Omukungu Roland Ssebuufu, agambye nti ensisinkano eno yakwongera okuvaamu ebibala bingi, ng’ebitongole bikolera wamu okutuukiriza emiramwa gy’Obwakabaka.

Mu ngeri ey’enjawulo Eddiiro lya bassenkulu lisiimye eyali Ssentebe wabwe Owek. Anthony Wamala, Ssaabasajja gweyasiima namuwa obwa Minisita w’ebyobulambuzi,embiri,ennono n’ebyokwerinda n’ekirabo olw’ekirowoozo kino.

Kinajjukirwa nti Eddiiro lino lituula buli luvannyuma lwa myezi 3 okukuba ttooci mu ntambuza y’emirimu n’okwongera okulung’amizibwa.