Tukuume Obutondebwensi, okulinnyisa  omuwendo gw’Abalambuzi – Owek. Wamala

Bya Shafic Miiro

Aba Ewaffe Cultural Village e Naggalama, ekifo ky’Obulambuzi ekimanyiddwa ennyo olw’okukozesa ebintu eby’obutonde, batongozza enkola ya Bulungibwansi gye baluubirira okugenda nayo mu maaso buli lwamukaaga olusooka mu mwezi.

Oweek. Dr. Anthony Wamala, Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda mu bubaka bw’atisse Mw. Yahaya Mutumba, agamba nti Bulungibwansi eteeka nnyo essira ku buyonjonjo obutandikira mu Maka abantu mwe basula, ekitegeeza okuyonja amaka buli kiseera, obutagabana we basula n’ebisolo, okunywa Amazzi amayonjo, okubeera ne kabuuyonjon’ebirala.

Minisita ayongeddeko nti Bulungibwansi assa essira ku bantu ssekinnoomu n’abomumaka gaabwe okwerwanako okutumbula embeera z’obulamu bwabwe, nga bakola emirimu egivaamu ensimbi eziyambako okwerabirarira. Akubirizza abantu okusimba emiti, okulongoosa enzizi n’enguudo ate okwewala okuzimba mu ntobazzi, okusuula kakyikya mu myala okusobola okukuuma Obutondebwensi.

“Wano mu Uganda Tuli baamukisa nti ebintu baffe tubirina mu butonde byabwo nga si bijingirire. Awo nno mbakubira omulanga okukuuma ennyo Obutonde bwaffe nga bwe buli, nga buli mu mbeera eyeegombesa abalala okutulambula batuwe ensimbi” Dr. Wamala.

Wano we yeebalizza aba Ewaffe Cultural Village olw’okutumbula emiddo eminnansi egivaako eddagala, ate n’okusimbanga emiti ekiyamba okukuuma Obutondebwensi. Abasabye okukozesa abantu b’okukitundu okugaziya obuweereza eri abalambuzi ekifo kigaziwe kifuukire ddala ekyali ky’Ebyobulambuzi.

Muky. Aisha Mayanja Nabwanika ategeezeza nti enkola ya Bulungibwansi gye batandise baluubirira okugikola buli lwamukaaga olusooka mu mwezi okusobola okuteekawo ekifo ekiwa abalambuzi omwaganya okukyeyagaliramu. Yeebaziza nnyo Obwakabaka olw’enkolagana ennungi wamu n’abantu b’omukitundu abakolaganye nabo obulungi ddala.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *