Owek. Nsibirwa akubirizza abakulembeze okulambika abantu ku nteekateeka za Gavumenti Eyawakati

Owek. Nsibirwa akubirizza abakulembeze okulambika abantu ku nteekateeka za Gavumenti Eyawakati

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akuutidde  abakulembeze mu Gavumenti Eyawakati okufaayo okulambika obulungi abantu ku nteekateeka ezireetebwa okubakulaakulanya bave mu bwavu.

Obubaka buno, Owek. Nsibirwa abuwadde aggulawo olukiiko lw’ lw’okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira ya Disitulikiti y’e Wakiso ku  ku kitebe ku Lwokusatu.

Owek. Nsibirwa agamba nti mu nkola nga Parish Development Model, Emyooga n’endala ensimbi zisaana kuyisibwa mu bibiina by’obweggasi ebiwandiise era ebimanyiddwa obulungi sso ssi kufuna bantu beewandiisa mu nkola ya kiyita mu luggya olufuna ssente ebibiina nebisasika ekigendererwa ekinene nekifa.

Owek. Nsibirwa yeebazizza enkolagana eriwo wakati w’obukulembeze ku Disitulikiti n’Obwakabaka era asuubiza nti Obwakabaka bwakuwagira enteekateeka za Disitulikiti mu byobulambuzi, ebyettaka, ebyenjigiriza, ebyobutondebwensi kasita biba bya kutumbula mbeera za bulamu bw’abantu.

Ye Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso, Hon. Matia Lwanga Bwanika yeebazizza Obwakabaka olw’okubeera eky’okulabirako mu nsonga z’okusitula embeera z’obulamu bw’abantu ng’agamba nti bwe bwatunuulira Embalirira y’Obwakabaka  nga mulimu ennyingo nnyingi ezisobola okubayamba ng’abakulembeze ba Disitulikiti okulabirako okuteekerateekera be bakulembera.

Bwanika agamba nti mu bukulembeze bwa Gavumenti ez’Ebitundu mu Gavumenti eya wakati wabeerawo okupapirira mu kusaba Embalirira, kyokka emirundi mingi n’ebiteekeddwamu ne bitakolebwako.

Ono  akubirizza abakulembeze ku lukiiko lwe okufaayo okuteeka mu mbalirira ebyo ebikulu era bye balaba nti bijja kutuukirizibwa ate nga biyamba abo abakulemberwa.

Mu lukiiko luno wabaddewo okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo, era Abakungu okuva mu Bwakabaka okubadde ow’ekitongole ky’eyettaka Omuk. Simon Kabogozza ne Mw. Yahaya Mutumba ow’ekitongole ky’ebyobulimi ki BUCADEF  bawadde emisomo eri abakulembeze abeetabye mu lukiiko luno.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *