Beene agabidde Abaami be mu Ssingo obuggaali 100

Beene agabidde Abaami be mu Ssingo obuggaali 100

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naagabira Abaami b’ emiruka mu ssaza Ssingo eggaali zibayambeko okubanguyiza mu by’ entambula olwo basobole okutuuka ku muntu asembayo wansi.

Omukolo guno guyindidde ku mbuga ya Mutuba III Bukomero ku Lwokusooka nga Mukwenda Deo Kagimu yakoze omukolo guno era wano kitegeerekese nti eggaali eziwera 73 ze zasooka okugabwa ku mukolo ogwayindira e Busimbi mu Ssingo.

Mukwenda  Kagimu alaze obwelalikirivu eri abantu ba Ssabasajja Kabaka abatandise okuva ku mulamawa gw’okwekulaakulanya nga bano omwenge bagukeera nga mmisa,  abasabye okukikomya mu bwavu era bafeeyo bakole okweggya mu bwavu.

Owek. Kagimu era  ategeezezza Bannabukomero nti Ssaabasajja Kabaka era yasiimye nateeka essomero lya  Nursery School mu bizimbe by’embuga ya Mutuba III Bukomero, bwatyo naasaba abantu okutwala abaana babangulwe.

Ono akuutidde Bannabukomero okukozesa obulungi ettaka ly’Obuwakabaka basobole okwekulaakulanya.

Omuwanika we Ssaza Ssingo Richard Kyambadde asabye Bannassingo obutapondooka olw’etteeka lye mmwaanyi naye bongere okuzirima era balwane okukuuma omutindo gw’ekirime kino

Abamu ku baami ba Nnyinimu  abafunye obugaali beebazizza  Beene olw’okubalowozaako era nebawera nti sibaku ssa mukono okutuuka nga embeera y’abantu b’Omutanda ekyuseemu.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *