Enteekateeka za Ttabamiruka w’Abakyala owa 2025 ziri mu ggiya

Agafa e Mengo Apr 10, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Bulange – Mmengo

Enteekateeka za Ttabamiruka w’Abakyala mu Buganda ow’omwaka 2025 ziri mu ggiya era olukiiko olutegesi lutudde okulaba ng’ enteekateeka eno ebeera ey’enjawulo.

Akuliddemu abakyala bano, Dr. Sarah Nkonge Muwonge agamba nti Ttabamiruka ono wakubaawo nga 16/05/2025 mu Lubiri lwa Beene e Mmengo mu Kampala.
Dr. Nkonge agamba nti Ttabamiruka w’omulundi guno, atunuliddwamu okwongera okuwagira emirimu gy’Abakyala olw’enkulakulaana eyannamadala nga Omugenyi Omukulu ajja kubeera Nnaabagereka Sylivia Nagginda mu Lubiri e Mmengo.

Nkonge agamba nti abaana abawala basosowaziddwa nnyo kubanga bebagenda okudda mu bifo by’abakulu nga kigenda kuteekawo emirandira eginateeka Buganda ku ntikko.

Omukulembeze w’Abakyala mu masaza gonna Omuzaana Agnes Kimbugwe akoowodde abakyala mu masaza okujja mu bungi ku mukolo guno era betabe butereevu mu nteekateeka eno.

LANGUAGE