
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ajjukiza gavumenti eya wakati okuwa eggwanga enfuga eya federo ebitundu okusobola okwekolera zaabyo.
Obubaka buno bwetikiddwa Minisita w’Obuwangwa , Ennono, Embiri n’Ebyokwerinda Oweek. Dr. Anthony Wamala bw’abadde atikkula oluwalo olusobye mu bukadde 44 okuva mu masaza; Kyaggwe ne Ssese ku Mbuga ya Bulange.
Kamalabyonna agamba singa Obwakabaka bufuna federo busobola okwekolera ku nsonga z’okutuusa obuweereza eri abantu baabwo okugeza nga ensonga z’obutondebwensi ezisinga okukosa abantu abava e Ssese mu bizinga nga kino kiva ku kukwata obubi ensonga y’ennyanja ekiviiriddeko n’abantu okusuulawo omulimu gw’okuvuba ebyenyanja.
Owoomumbuga yeebaziza Abaami ba Kabaka abakulemberamu okukunga abantu okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka nga Oluwalo kubanga ziraga nti abantu ba Kabaka basobola okukola ebintu ebisobola okubayimirizaawo newankubadde Obwakabaka tebusoloza misolo.

Oweek. Israel Kazibwe Kitooke nga y’akuuma entebe ya Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Ali Ebweru w’Eggwanga, ategezeeza Obuganda nga Omwegezi w’Obwakabaka nti Katikkiro agenda kwetaba mu ttabamiruka wa Buganda mu Buwarabu okuva nga 12 paka 14 omwezi guno wansi w’omulamwa “Ebyokuyiga ku mawanga nga tuluubirira enkulakulaana”.
Ku lw’abaami bamasaza, Omwami w’essaza Ssese Kweba Owek. Augustine Kasirye agamba nti enguzi, okweyagaliza n’obwanantagambwako bye bisinze okwonoona emirimu egikakalabizibwa ku nnyanja e Ssese naye akakasiza Kamalabyonna nti abantu kati basaze amagezi nga basituukiddemu mu kaweefube wa mmwanyi terimba okusobola okweggya mu bwavu.
Oluwalo lwetabiddwako Omwami w’essaza Ssese Kweba Owek. Augustine Kasirye n’Omumyuka we Muky. Susan Namubiru, Omumyuka Asooka owa Ssekiboobo Owek. Moses Ssenyonjo, ababaka b’Olukiiko lwa Buganda abawummula, omubaka omukyala akikirira Kalangala mu Palamenti Hon. Hellen Nakimuli, eggombolola okuva mu Kyaggwe; Mut. IV Kawuga, Ssese; Mumyuka Bujumba, Ssaabaddu Mugoye, Ssaabagabo Kyamuswa, Ssaabawaali Bufumira, Musaale Bubeke, Mut I Mazinga ne Mut II Kalangala.