Tutaasa Tutya Ettaka ly’Obutaka?

Amawulire Sep 30, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kajuna – Buddu

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala asabye abakulu b’Ebika bonna okuwandiisa ettaka lyabwe beetase ku kibba ttaka n’ebirala ebiyinza okulikosa.

Bino abyogedde bw’abadde akyaddeko ku butaka bw’Ekika ky’Amazzi g’Ekisasi ku kyalo Kajuna mu ggombolola ly’e Buwunga ssaza Buddu.

Minisita Wamala abasabye okukola obutaweera okukuuma obuggaga bw’Ekika nga balina kutandiika na kwerondamu abayima bawandiise ettaka ly’ekika beewale abatamanyangamba abayinza okwegwanyiza ettaka ly’ObutakaOweek. Wamala agamba nti Obwakabaka bwagala okulaba nga obukulembeze buggumidde ku mitendera gyonna; “Obukulembeze bwetaaga okunywera mu kasolya, enyiriri, mutuba, luggya, masiga buteeketeekebwe okusobola okukunga abazzukulu okubaagazisa emirimu egikolebwa mu kika kyabwe.” Minisita Wamala

Minisita Anthony Wamala

Okwongera okutumbuula enkulaakulana mu kika, Minisita Wamala asabye okusisinkana obukulembeze bw’Ekika ky’Amazzi g’Ekisasi mu kafubo akaseera ak’omumaaso okutema empenda ku biki ebisobola okubayambako okwebbulula nga ekika.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba, bano abakubirizza obutenyooma wabula bafube okunonya bazzukulu baabwe okukomawo awaka bawagire Ekika kyabwe banyweze Nnamulondo.

Nnamwama era yebaziza nnyo Omutaka Wooyo olw’okubeera omujjumbize mu nkiiko z’Abataka abakulu ab’Obusolya n’abasaba okussa ekitiibwa mu biteseebwa mu nkiiko zino nga beyunira okuzza ekika kyabwe ku mulembe omuggya.

Omutaka w’Ekika ky’Amazzi g’Ekisasi Wooyo Muyanja David anyonyodde Minisita obuvo n’obuddo bw’Ekika kino okuviira ddala ku bajjajjabwe n’enkyuukakyuka ezizze zibeerawo mu Kika kyabwe ku mitendera gyonna.

Ekika kino kiwezeza omuwendo gwa bika 34 ebyakalambulwa Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek Dr. Anthony Wamala ku ddimu ly’aliko ery’okuzaamu amaanyi ebika bisobole okwekolera ku nsonga zaabyo.

LANGUAGE