Ssabbiiti ya Bulungibwansi 2025 Etongozeddwa

Amawulire Oct 01, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange-Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda butongozza ssabbiiti ya Bulungibwansi 2025.

Ng’asinziira mu Bulange e Mmengo Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ku lwa Katikkiro y’atongozza enteekateeka ey’ennaku 7 ez’okunnyikiza enteekateeka za Bulungibwansi mu Uganda yonna nga emikolo egisinga gya kubeera mu ssaza Kyaddondo.

Ebimu ku binaakolebwa z’ensiisira z’ebyobulamu, okunyikiza kawefube wa maka amalungi akaalo amatendo, ekivvulu kya Bulungibwansi mu masomero n’ebirala nga byonna bijja kutambulira ku mulamwa ‘Tunnyikize Bulungibwansi n’Obukulembeze bw’Ebitundu nga twettanira Tekinologiya mu Bavubuka, tuzze Buganda ku Ntikko’.

Kinajjukirwa nti nga 8 ogw’ekkumi mu 1962 Buganda lwe yafuna obwetwaze okuva ku bafuzi b’amatwaale era Obwakabaka bwasalawo okujjukiranga olunaku luno nga bukuza olunaku lwa Bulungibwansi olukulembera ssabbiiti ennamba omukolebwa enteekateeka za Bulungibwansi ez’enjawulo.

Owek. Patrick Luwaga Mugumbule alaze nti Bulungibwansi alina okukolebwa mu buli ssaza era asabye abaami ba Kabaka bonna okubeera eky’okulabirako mu bitundu byabwe. Akoowodde abantu okwetaba mu nteekateeka zonna eziri mu wiiki eno kuba byonna bikolebwa ku lw’obulungi bw’abantu ba Ssaabasajja ono ekyokulabirako awadde kya kaalo amatendo nga baakusa essira ku ndabika y’amaka esaanidde.

“Bulungibwansi akolebwa mu buli kitundu na buli ssaza kuba tulina eŋŋoma Ssaagala agalamidde ekubibwa okuzuukusa abantu tugende tuweereze nga tukola obuyonjo gye tuli era tusitule omutindo gw’obulamu gye tubeera” Owek. Mugumbule.

Minista wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Owek. Mariam Nkalubo Mayanja annyonnyodde nti enkola ya Bulungibwansi ya bugunjufu obwasobozesa ne Buganda okufuna obwetwaze nga 8 Mukulukusabitungotungo era elina okutwalibwa mu maaso naddala mu kugisomesa abaana.

Owek. Mariam asabye abantu okukubiriza bannaabwe naddala ku nsonga y’obugunjufu ku kkubo nga babakomako obutakanyuga buccupa mu mifulejje kuba kikyamu, ono agamba oba oli awo osanga banaafuna ensonyi ne bakomya ebikolwa ebyo.

Ensisinkano eno yetabiddwamu baminisita okubadde Joseph Kawuki, Israel Kazibwe Kitooke, Kaggo Hajji Ahmed Magandazi Matovu, Abaami ab’eggombolola wamu n’abakulira enkiiko za Bulungibwansi mu ssaza Kyaddondo.

LANGUAGE