Obwegassi, Omutindo gw’emmwanyi e Kenya bicamudde abalimi abavudde e Buganda

Amawulire Nov 06, 2025
Share This

Bya Arthur Kalumba

Kenya

Ekibiina ky’obweggassi e Kenya ki Ndumbari Coffee Farmers Cooperatives Society wamu ne kkampuni eyongera omutindo ku mmwaanyi kicamudde abalimi 100 abatwaliddwa Kabaka Foundation okwongera okuyiga ku nnima ey’omulembe, kino kirimu abeeggassi 3500 abalimira mu bifo ebifunda ddala nga omulimi okubeera mmemba alina okuba n’ebikolo by’emmwaanyi 200 byokka n’aganyulwa nga banne abalala bonna.

Abalimi bwe bavuudde eyo ate bayolekedde Miika Estates eno ekibewunyisiza nti emmwanyi ze balambudde zasimbibwa mu 1928 eri ku yiika 600 nga abaddukanya ennimiro eno omulimu gw ebakola omunene gwa kunyikira kulabirira mmwanyi ezo bo ne beenogera ensimbi.

Mu ngeri y’emu abalimi bano batabaalidde ddala ne batuukako ne ku kkolero eryongera omutindo ku mmwanyi nga bakolamu kaawa anyebwa, ekigendererwa kya bano kwe kusigaza akatale aka namaddala nga basoosowaza omutindo mu kaawa gwe bafulumya.

Daudi Zziwa nga mulimi era eyakikiridde ebibiina bya CBS pewosa Nsindika Njake alaze nti ayize bingi by’agenda okuzza okwa boobwe naddala mu beggasi ba Ssaabasajja nga beewola ku magezi g’ekikugu ku bannaabwe e Kenya.

Abalimi bano abakulembeddwamu ba Abataka Abakulu b’Obusolya bonna bakizudde era ne bakkiriza nti obweggassi, n’okunyikira okwongera omutindo ku mmwanyi ky’ekiyambye abalimi mu Kenya okwenogera ensimbi eziwera ku katale k’ensi yonna.

LANGUAGE