Omukulu w’Ekika ky’Obutiko omuggya atuuziddwa

Amawulire May 09, 2026
Share This

Bya Huzairu Jjuuko Wasajja

Busujju

Omukulu w’Ekika ky’Obutiko omuggya atuuziddwa leero ku mukolo ogukoleddwa ku kyalo Nsasa Nakaziba mu gombolola y’e Butayunja, Mityana mu ssaza Busujju.

Omutaka Ggunju omuggya atuuziddwa ye Mutaka Namutete Mugwanya Henry.

Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda Oweek. Anthony Wamala abaddewo mu kutuuza Omutaka ono, amukuutidde okunyweza ensonga z’ekika kino eky’Obutiko okulaba nga obutakanya n’endooliito ezisusse ensanji zino mu bika zikoma.

“Obutakanya n’endooliito zisusse ensangi zino mu bika naye tulina okusala empenda okulaba bwetuzigonjoola”. Minisita Wamala agamba nti ensonga z’ekika lwoya lwa mu nnyindo, bwatyo akubirizza abantu bonna okwongera n’okujjumbira ensonga z’ebika byabwe bisobole okuggumira bitaasibwe okuva eri endooliito ezitali zimu.

“Tuteekwa buteekwa okunyweza n’okujjumbira ensonga z’ebika byaffe era nkubiriza abantu mwenna okunyiikira okwenyigira obutereevu mu nsonga ezikwata ku bika byammwe awo Buganda lw’enedda ku ntikko”. Minisita Wamala.

Kinajjukirwa nti ekika kino kibadde n’endoliito okumala ebbanga eriwerako nga era zatuuka ne mu mbuga ya Kisekwa ne kkooti ya gavumenti eya wakati, era Minisita asinzidde awo n’akubiriza abantu okweyigiriza okugoberera ennono ku nsonga zonna ezikwata ku bika.

“Twagala tweyambe, enkola ez’obugunjufu Bajjajja ffe ze baateekawo okunyweza Obwakabaka tuzigoberere, ekitekesaawo abalamuzi kulamula kituufu na kikyamu n’olwekyo mbakubiriza okweyigiriza okugoberera enkola ennono n’amateeka bye galamula” Oweek. Wamala.

Minisita Wamala yebazizza abantu okujjumbira enteekateeka za Ssaabasajja Kabaka era n’abajjukiza ku nteekateeka y’Obwakabaka eya Situla Omutindo, awo n’abasaba okusitula omutindo mu buli kintu kyonna kye bakola.

Omutaka Ggunju Namutete Mugwanya Henry ategezezza nti mweteefuteefu okukuuma nnono z’ekika kino eky’Obutiko wamu n’okweŋŋanga abo bonna abavvoola ekitiibwa kya Nnamulondo.

“Bajjajjange bwe baali baloopa omusango gw’ekika ky’Obutiko, twali tuvunaana ennono ate nga ennono kintu kikuli, n’olwekyo ensonga lwaki twasazeewo okukomawo e Busujju wano, kwe kukuuma ennono z’ekika ky’Obutiko n’okulwaniririra nnamulondo” Omutaka Ggunju.

Ven. Ssekamatte Steve akiikiridde Omulabirizi wa Central Buganda ayagalizza Omutaka Ggunju emirembe wamu n’obuwanguzi mu lugendo lwe lwayolekedde.

“Ssebo Omutaka Ggunju abantu abakwesize tukusaba obutabaswaza kika butiko, kirina okudda ku ntikko n’olwekyo tukwagaliza obuwanguzi mu lugendo lwo”. Ven. Ssekamatte. Ono akubirizza abazzukulu abeddira obutiko okwenyigira obuteerevu mu mirimu gy’ekika nga batambulira wamu ne jjajjabwe Ggunju atikkiddwa okukulembera ekika ekyo.

Mu mbeera y’emu, Ven. Ssekamatte agumizza Jjajja Ggunju olw’obuzibu bwonna bw’anaasanga mu buweereza bwe buno bw’ayolekedde era n’amusaba wamu n’okumusibirira entanda okubeera omusaja ekimala okusobola okweŋŋanga ebiwonvu n’ebikko by’anasanga mu lugendo lwe.

Omukolo gw’okutuuza Omutaka gwetabiddwako Abataka Abakulu b’Obusolya, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo n’abazzukulu mu Kika ky’Obutiko n’abantu abalala.

LANGUAGE