Enkola Entongole mu kwabya olumbe 2026 – Obwakabaka bwa Buganda

Share This

Okwabya olumbe gwe mukolo ogusembayo ogukolebwa ng’omuntu afudde. Omukolo guno gulina kubaawo oluvannyuma lw’ebbanga waakiri lya myezi mwenda oluvannyuma lw’okuziika omugenzi. Newaakubadde abantu abamu balowooza nti okwabya olumbe kwekuusa ku lumbe olwatta omugenzi, erinnya ly’omukolo guno lisimbulizibwa mu kalombolombo k’okwabya ensiisiira akakomekkereza omukolo guno.

Empisa y’okwabya olumbe gwe musingi gw’obusika n’obukulembeze ku mitendera egy’enjawulo mu bika byaffe. Empisa eno eyamba okulambika ensikirano mu bika, okukuuma omusaayi gwaffe n’okutereeza ensonga eziwerako mu bika. Ekyo nno kye kigifuula nnamuziga ebika kwe bitambulira.

Ku mukolo guno, ebikolebwa byonna biyamba abaaviibwako omuntu waabwe okufuna essuubi ly’okutambuza obulamu obuggya n’okuwa omusika omusingi kw’alina okutambuliza obukulembeze obumuweebwa. Okukungubaga mu Buganda okutandika ng’omuntu afudde kukomekkerezebwa n’okwabya olumbe era awo ensonga z’omugenzi zonna we zimalirizibwa.

Download here:  Enkola Entongole mu kwabya olumbe

 

 

 

LANGUAGE