Bya Samuel Stuart Jjingo
Kasubi – Kyaddondo
Omukolo gw’okusala ekisasi (ku mulyango gwa Muzibwazaalampanga ) gwe gusembayo okukakasa nti ennyumba eno ewedde nga kati omukolo omutongole gulindiridde Ssaabasajja Kabaka bw’anaasiima.

Omukolo guno gukulembeddwamu Nnaalinnya Beatrice Namikka, yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka okukola ekisoboka okulaba nga ennyumba ya bajjajjaabe eddawo.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwagga Mugumbule atenderezza nnyo omulimu ogukoleddwa mu kuzzaawo n’okuddaabiriza Amasiro g’e Kasubi era agamba nti y’ensonga lwaki omulimu guno gututte akabanga okutuuka wano.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala yeebazizza nnyo gavumenti yawakati ne UNESCO olw’enkolagana ennungi ku mulimu ogututte emyaka egisuka mu 10 okulaba nga kati guwedde era yesunze olunaku Ssaabasajja Kabaka lwanaasiima okuggulawo omulimu guno mu butongole.
Nga 12 Ntenvu, 2025, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasinziira mu Masiro gano okulangirira nti omulimu gw’okuzzaawo Muzibwazaalampanga gwali guwedde.
Wabulaakayole y’akulembeddemu omukolo guno ogw’ennono era gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja n’Omuzaana Marion Nankya, Nnaalinnya Victoria Nkinzi, Ssaabalangira Fredrick Sunday Kateregga, Abalangira n’Abambejja n’abaweereza ba Kabaka mu buweereza obw’enjawulo.
