Akakiiko akalondoola emirimu mu masaza kanjudde alipoota

Amawulire Aug 20, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Akakiiko akaateekebwawo okwekenneenya entambuza y’emirimu mu Masaza, kamalirizza omulimu ogwakaweebwa era kawaddeyo alipoota y’ebizuuliddwa eri Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek Joseph Kawuki.

Nga 7 Muwakanya 2026, akakiiko lwe kaatandika okutalaaga Amasaza ga Buganda, bingi ebizuuliddwa ebizzaamu amaanyi n’ebisomooza bya kusalirwa amagezi.

Robert Ssenabulya omuwandiisi w’akakiiko kano, bw’abadde asoma alipoota eno ku lwa Ssentebe Godfrey Male Busuulwa, agambye nti ku mulundi guno amasaza geyongeddemu mu buweereza era n’enkola ya situla omutindo yetaniddwa nnyo, okugeza bongeddemu amaanyi mu kukuuma n’okutereka ebiwandiiko, enkwata y’ensimbi, eby’enjigiriza bitumbuddwa, bawadde abalala emirimu, bataddewo polojekiti ezivaamu ensimbi n’ebirala.

Alipoota eno eraze ebisomoozo Abaami ba Kabaka bye basanga mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe omuli; Embuga ezimu okumaamibwa abasirikale b’ebitongole by’okwerinda era akakiiko kasabye abantu abo bagambibweko kubanga battattanya ekitiibwa kya Buganda, era waliwo abantu abeesenza ku mbuga z’e ggombolola ez’enjawulo naddala eziri mu bibuga era akakiiko ne kasaba obwakabaka buyambeko abeggombolola okufumuula bannakigwanyizi bano.

Akakiiko era kakiraze nti ebitongole bya gavumenti bikyagaanidde mu bizimbe by’Obwakabaka ate nga tebasasula, tebabyamuka, yadde okukola liizi. Mu mbeera eyo akakiiko kakizudde nti abaami ba Kabaka beetaaga emisomo bongere okwogiwala.

Bw’abadde akwasibwa alipoota eno, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka, n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, agambye nti okulondoola emirimu bwegiddukanyizibwa mu bwakabaka kwali kwolesebwa kunene okuva eri Ssaabasajja Kabaka era ddala Maasomoogi.

Oweekitiibwa Kawuki agamba nti nga tuli mu mubala gwa situla omutindo, okwekenneenya ebikolebwa ku mbuga kikulu nnyo era asabye Abaami bamasaza okutandika enkola eno balondoole embuga z’amaggombolola, akakiiko we kaliddiramu okulondoola omwaka ogujja nga waliwo enjawulo mu buweereza.

Ku nsonga y’okukola ebiwandiiko, Oweek Kawuki ajogeddeko nga bweri enkulu mu kutereka bwino obubaka ne buva mu bigambo ne budda mu buwandiike era enkola eno ejja kuyamba nnyo Abaami abaggya okufuna webatandikira. Olw’okwagala okusitula omutindo mu buweereza, Minisita Joseph Kawuki agambye nti bagenda kukolayo alipoota eya buli Ssaza, nga erimu, ebifaananyi, eraga ebituukiddwako ne webaseereddemu kibayambe okwetereeza.

Alipoota eno egenda kuweerezebwa ewa Katikkiro oluvannyuma omuwanguzi alangirirwe.

LANGUAGE