Bya Kalumba Arthur
Kasubi – Kyaddondo
Obulabirizi bw’e Namirembe bwetabye mu misinde mubuna byalo, egitegekeddwa okusonda ensimbi okumaliriza omulimo gw’okuzimba amaka g’omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe amatongole.

Omuddusi omukulu owa kilomita 3 abadde Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa era asimbudde abaddusi ate Dr. Lawrence Mulindwa y’abadde omuddusi omukulu owa kilomita 5.

Omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja akulembeddemu abakulisitaayo okwetaba mu misinde gino ne mu nteekateeka z’okuzimba ennyumba y’obulabirizi.
Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, yebazizza abantu bonna abavujjiridde kaweefube w’okuzimba olw’omuwendo omunene gwebaakawayo okulaba nga ennyumba y’obulabirizi emalirizibwa era n’abasaba obutakoma awo wabula beeyongere okuleete ensimbi kubanga omulimo gukyali munene ddala.

Emisinde gyetabiddwako, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Ssenkulu wa BBS Terefayina Omuk Patrick Ssembajo, n’abantu ba Mukama abatali bamu.
