Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Nnajjanankumbi – Kyaddondo
OKUSABIRA OBUWANGUZI BUGANDA BWETUUSEEKO E NNAJJANANKUMBI
Nga Obuganda bwetegekera okukuza Olunaku lwa Bulungibwansi, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiimye abantu olw’okufaayo okuwagira emirimu gy’Obwakabaka n’okwenyigira mu bulungibwansi.

Obubaka bwa Katikkiro abutisse Minisita w’Amawulire, okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, ku mukolo gw’okusabira obuwanguzi bwa Buganda ogwabadde ku Kanisa ya Seventh-day Adventist e Nnajjanankumbi.
Katikkiro yebazizza abantu b’e Nnajjanankumbi olw’okuwaayo obudde n’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka, n’agamba nti okwenyigira mu mirimu egyo kye kimu ku biraga omwoyo gwa Bulungibwansi.
Katikkiro asiimye Gavumenti eyawakati olw’enkola ya Bulungibwansi eyateekebwawo buli Lwamukaaga olusembayo mu mwezi, n’akubiriza abantu okwenyigira mu nteekateeka eno, ng’obuyonjo bwe bumu ku bukulu mu kutangira endwadde. Katikkiro era annyonnyodde nti Bulungibwansi butandikira mu maka, naddala nga mayonjo, nga galimu emmere, abantu abalamu, emirimu egiyingiza ensimbi n’abantu abalina empisa era abassa ekitiibwa mu buwangwa n’ennono.

Mu bubaka bwe, Minisita w’Amawulire, Okukunga era omwogezi w’Obwakabaka Owek Israel Kazibwe Kitooke asiimye abakulisitaayo olw’enteekateeka zaabwe ezigenderera okugunjula abaana n’okubateekateeka okuba abantu ab’omugaso mu bantu.
Omusumba Ssekito Noah, eyakulembeddemu okusaba, naye asiimye Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka ez’enjawulo ezigenderera okutumbula obulamu bw’abantu, obuyonjo n’ebyenjigiriza mu Buganda.

Omwami w’Omuluka Nnajjanankumbi, Mituba VII, Kasujja George yebazizza ekkanisa olw’okwenyigira mu nteekateeka ezigenderera okutumbula abantu n’okunyweza obumu mu kitundu.