Bya Gerald Mulindwa
Lubaga – Kyaddondo
Ekeleziya Katolika etenderezza obwakabaka olw’okunnyikiza ebikolwa bya Katonda eby’ekisa mu bantu ebiyitira mu bannaddiini.

Ebikolwa nga; okwagalana, obumu, okusonyiwagana, okufaayo eri abeetaaga okubeerwa, okulwanyisa enguzi n’obulyake, Ssaabasajja avuddeyo nnyo okubirwanako era bino bye byoleka akabonero ka Bulungibwansi n’ekigendererwa eky’okukyuusa embeera z’Abantu. Bino Bwanamukulu wa St. Mary’s Cathedral Lubaga, Rev. Fr. Achilles Mayanja, abyogeredde mu kitambiro ky’emmisa ekiyimbiddwa okusabira obwakabaka ne Kabaka mu bikujjuko by’okukuza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti nga 8 Mukulukusabitungotungo ku mbuga y’e Ggombolola Ssaabawaali Gombe mu Kyaddondo.
Fr. Mayanja asabye abantu okutegeera nti ekisa kiva wa Katonda era kijjirako ebibala ebirungi ebyeyolekera mu nneeyisa y’omuntu, n’olwekyo basaana okunywerera ku bibala ebyo olwo eggwanga lifune emirembe.

Mu bubaka bwa Katikkiro obusomeddwa Omwami w’Essaza Busiro, Oweek Ssebwana, Charles Kiberu Kisiriiza, Katikkiro Charles Peter Mayiga annyonnyodde engeri Bulungibwansi gye yeyolelera mu maka.
Agamba gano ge maka amateeketeeke, amayonjo, nga n’abagalimu balamu, era agalimu emmere egamala, era nga galina ebikolebwa ebivaamu ensimbi ezigayimirizaawo. Abantu ab’omu maka ago baba n’empisa; amaka ago gategeera obuwangwa; era ng’abazadde balabirira, bagunjula n’okuweerera abaana. Amaka bwegati gabaamu empuliziganya ennungi era geetangira ebiyinza okuvaako obutabanguko mu go.

Enteekateeka zesigamiziddwa ku mulamwa “Tukolere wamu okusitula omutindo gw’enkola ya Bulungibwansi n’obukulembeze bw’ebitundu ku lwa Buganda ey’Enkya”