
Bya Gerald Mulindwa
Crystal Palace – Bungereza
Ab’ e Bungereza ne Ireland batandise ebikujjuko by’okukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’e 70 okwetegekera emikolo emikulu.
Bano basoose kudduka misinde ku Crystal Palace Park n’oluvannyuma ne beesanyusaamu mu mizannyo egy’ enjawulo.
Enteekateeka eno ekulembeddwamu omubaka wa Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Oweek Geoffrey Kibuuka asinzidde wano n’akubiriza bannayuganda mu okuwagira omulamwa gwa Ssaabasajja Kabaka ogw’ okulwanyisa mukenenya.

Emisinde gitegekeddwa mu bendobendo lya South West England, erikulemberwa Mukyala Nabatta Mukiibi.
Abantu ba Kabaka ab’enjawulo beetabye mu nteekateeka eno okuli; Omulangira Kateregga n’Omuzaana; Nnaalinnya Nakabiri, Omumbejja Mpologoma, Oweekitiibwa Ronald Lutaaya, Sheilk Butannaziba Kalantan n’abalala.

Wano mu Uganda amazaalibwa ga Kabaka ga kukuzibwa nkya 13 mu lutikko ya St. Mary’s Lubaga.