
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Bammemba b’ ekibiina ekitaba Abarundi bonna mu Uganda bakyadde Embuga okulaba bwebasobola okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka.
Bano nga bakuliddwamu Mw. Sseguya Godfrey amanyiddwa ennyo nga Kayibanda era baniriziddwa Minisita w’Ekikula ky’Abantu Oweek. Mariam Mayanja Nkalubo e Bulange Mmengo ku Lwokusatu.
Minisita Mayanja ategezeeza nti banno bazze Embuga okusaba okusisinkana Katikkiro bamwanjulire enteekateeka zabwe nga ekibiina awamu n’emirimu gyebakola nga bayita mu kuleeta Oluwalo awamu n’Amakula ga Kabaka.
Bano basabye Obwakabaka okubakwatirako okuvumirira okusosolebwa okubatuusibwako abantu omuli okubayita abalina ebiteega, ebiyembe ebikaaba nolwekyo olwokuba nti bakulidde mu Bwakabaka.
Kayibanda ategeezezza nti abalundi bawulize eri Kabaka, era baagala batwalibwe nga abantu ba Kabaka bayigirize abaana babwe obuwangwa n’ennono.

Oweek. Mariam abagumizza nti ekibiina kyabwe kigenda kuzimbibwa Obwakabaka nga buyita mu Minisitule y’Obwegassi, kifune obukulembeze obutuufu kimanyibwe n’emirimu emituufu gyekikola.