Aba Ahmadiyya bakyadde Embuga, beebazizza Obwakabaka olw’ obutasosola mu maddiini

Agafa e Mengo Apr 16, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo 

Bulange – Mmengo

Abakulembeze b’ enzikiriza ya Majlis Khuddamul Ahmadiyya bagenyiwaddeko Embuga nebeebaza Obwakabaka olw’ okwaniriza eddiini zonna awatali kusosola.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga Minisita Noah Kiyimba yaabaniriza kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Bano nga bakuliddwamu atwala abavubuka,  Mw. Abdu Kiwanuka nga basabye Obwakabaka okwetaba mu lukungaana olw’emirembe mu ggwanga olutegekeddwa ku Imperial Royale Hotel nga 30 ogw’okutaano. 

Kulwa banne, Kuwangula yeebazizza Obwakabaka olw’enteekateeka y’okwaniriza eddini ez’enjawulo nga kino kiyambyeko nnyo okutuusa ensonga ezizikwataako eri Embuga.

Bano baliko ebitabo bye batonedde Katikkiro omubadde obutabo obukwata ku nzikiriza yabwe. 

Bayozayoozeza Ssaabasajja Kabaka okuweza emyaka 70 egy’ekitiibwa nebamwagaliza obuwangaazi. 

Minisita Kiyimba abeebazizza olw’ obugenyi buno era nabakuutira okugoberera emirimu egikolebwa Obwakabaka era beenyigire mu nteekateeka ezenjawulo. 

LANGUAGE