Aba Uganda Bureau of Statistics bakiise Embuga, bawakanyizza eby’okuggya Obuganda ku maapu

Amawulire, Agafa e Mengo Mar 28, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Bulange – Mmengo

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo mu Ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kivuddeyo  ne kisambajja eby’okufulumya maapu ya  Uganda okutali Buganda nga bayamba nti bino ssi bituufu.

Omumyuka wa Ssenkulu w’ekitongole kino, Dr. Ssennono Fred Vincent  Embuga agamba nti ebyogerwa nti maapu eyafulumiziddwa okutali Buganda yavudde mu kitongole ki UBOS bikyamu kuba tebanabeera nanteekateeka kkula kino.

Ono annyonnyodde era n’alaga maapu eyasembyeyo okufulumizibwa okuva gye bali 2024 nga Buganda kweri.

 Ayongeddeko nti okusinziira ku mukago gwe balina n’Obwakabaka bwa Buganda mu bintu eby’enjawulo ate tebayinza kuggya Buganda ku maapu nga bakimanyi bulungi nti Buganda kimu ku bitundu ebikola Uganda.

Dr. Ssennono era agamba nti abatambuza maapu eno nga bagikisiba ku Gavumenti nti y’egifulumya banoonya kuteekawo luwonko wakati wa Gavumenti ne Buganda, era bwatyo aweze nti tewali ayinza kuggya Buganda ku Uganda. 

Bano baguze n’emijoozi okuwagira enteekateeka z’emisinde gy’amazalibwa ga Kabaka.

Minisita w’Amawulire Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke mu kwogera kwe  yeebazizza nnyo aba UBOS okuvaayo ne bakola okutangaza ku nsonga eno era asinzidde wano n’akubiriza abantu okwewala abasaasanya amawulire agatali matuufu olw’okunoonya obugoberezi ku mitimbagano.

LANGUAGE