
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Ababiito be Kibulala beegaanye omusamize Wasajja Moses, eyeyita Kabaka w’emisambwa e Kibulala eyalabikiddeko mu katambi nga akongojjebwa nga Kabaka nebamusaba kino okukikomya.
Kino kiddiridde akatambi okusaasaanira omutimbagano nga omusamize eyeeyita Ssaabakabona Jjumba Lubowa Aligaweesa, ayanjula musamize munne Wasajja Moses nga atuuziddwa ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe e Kibulala ewa Ssekabaka Winyi.
Kino kiwalirizza Ssaababiito w’e Kibulala, Omulangira Walugembe Kateregga okufulumya ekiwandiiko eri bannamawulire nga atangaaza ku katambi kano era kino akisomedde bannamawulire abakung’aanidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.
Ssaababiito w’e Kibulala Omulangira Walugembe Kateregga ategeezezza nti Olubiri lwe Kibulala lumanyiddwa bulungi mu Bwakabaka bwa Buganda nti bwe butaka bw’Abalangira n’Abambejja Ababiito abasibuka mu Ssekabaka Winyi Chwa Male Wasswa, ng’ono yazaalibwa ne balongo banne okuli ne Chwa Nabakka e Bugumya.
Ono agattako nti Abalangira be Kibulala olwa leero bakulemberwa Ssaababiito Walugembe Kateregga V era obwa Ssaababito obwasooka bwateekebwateekebwa Ssekabaka Dsudi Chwa mu 1800, olwo Sir Edward Muteesa n’atongoza Olulyo lw’Abalangira Ababiito mu bwa Wasswa n’okutuusa kati era Nnaalinnya w’Amasiro ge Kibulala e wa Winyi mu kiseera kino ye Mumbejja Dina Kigga muka Lukidi omwana wa Ssekabaka Sir Edward Luwangula Muteesa II.
Ekirala, Ennono n’obuwangwa bw’Abalangira n’Abambejja be Kibulala etambulira wamu n’olulyo Olulangira olw’abaana ba Kabaka Kintu era Ssaababiito Walugembe akakasizza obuganda nti Ssaababiito, ba Jjajja abakulira emituba batambulira wansi wa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda era n’Obuganda.
Ssaababiito Walugembe Kateregga akkaatirizza nti abo abeeyita ba Kabaka b’emisambwa nga Kafunenda Moses nga beegasse wamu n’abeeyita ba Ssaabakabona Jjumba e Kibulala tebabamanyi era emikolo gyabwe baagikolera eyo mu Buddu sso ssi Kibulala e Ssingo era balina ebigendererwa bya kutabangula bwa Kabaka nga beesigama ku Kibulala ate nga e Kibulala tebalinaayo mikolo gyonna gyekuusa ku kutuuza Kabaka nga egyo egirabikira mu katambi.
Ye Nnaalinnya Dina Kigga agamba nti emikolo Omulangira Moses Wasajja gyeyakola tebagimanyiiko era byonna bye yakola bya kyewaggula.

Jjaja w’Olulyo Olulangira mu Bwakabaka bwa Buganda, Omulangira Luwangula Basajjansolo asabye bazzukulu ba Buganda okwewala okwenyigira mu nsonga eyinza okuvaako okutabangula emirembe mu Bwakabaka kubanga Obwakabaka bwa Buganda bulina emitendera egiyitibwamu okutuuka ku Ssaabasajja Kabaka.
Omulangira Luwangula agattako nti teri muntu yenna k’abe musawo wa kinnansi akkirizibwa kubaako mukolo gwa nnono gwakola nga obwakabaka bwa Buganda tebumuwadde lukusa. Bwatyo n’asaba abo abeenyigira mu bikolwa bino nti bakimanye batabangula Nnamulondo.