Abakulembeze mu ggombola ya Kisekka babanguddwa

Amawulire, Agafa e Mengo May 07, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kisekka – Buddu

Obwakabaka buwadde abakulembeze be Ggombolola Mutuba 13 Kisekka mu Buddu, omusomo ku bukulembeze okusobola okuggusa obulungi obuweereza obwabakwasibwa.

Omusomo guno gubaweereddwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek. Joseph Kawuki n’abategezeezza nti okudda kwa Bugabda ku ntikko, kulina kubeera kwa bikolwa okusobola okutambuza omulamwa guno okugeza nga okujjuza ebifo by’obukulembeze ku lukiiko lw’amaggombolola, emiruka nokutuuka waggulu nga kigenderera okutuusa obuvunaanyizibwa obw’omukitundu.

Oweek. Kawuki abasabye okubeera abajjumbize mu nsonga ezikwata ku Bwakabaka nga bayita mu kuleeta oluwalo ekiraga nti Obwakabaka bu bakunze okuddamu okulima emmwanyi nga bwekyeyoleka mu byuma ebiseesa emmwanyi mu kitundu kyabwe.

Oweek. Kawuki yeebazizza nnyo Hon. Bazira Ssewanyana olw’okuba ekyokulabirako mu buweereza bwe nga yawaddeyo ettaka erizimbibwako Embuga n’ekisaawe ky’e ggombolola.

Minisita w’Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek. Noah Kiyimba mwennyamivu olw’obunafu obwoleseddwa abakulembeze abeesuliddeyo ogwa naggamba ku nsonga za Nnamulondo nga tebeenyigira mu nteekateeka z’okuzimba n’okuddaabiriza Obwakabaka.

Oweek. Kiyimba ategezeezza nti balina okwewala okwekwasa obusongasonga ekiviiriddeko okudirira mu nkulaakulana nga ate basobola okwenyigira obutereevu mu nteekateeka zino.

Omumyuka ow’Owokusatu owa Pookino Mw. Muwanga Dick asiimye nnyo baminisita ba Kabaka okuva mu woofiisi zaabwe okukyalako mu kitundu kino kubanga kyakulabirako kyamaanyi era kigenda kubayambako okutambuza emirimu gya Kabaka gigende mu maaso.

Omwami w’eggombolola Mutuba XIII Kiseka, Hajj Abdul Kalibbala asiimye nnyo ba Minisita ba Kabaka okukyala mu ggombolola lye n’akunga abantu be okukwatagana batambuze emirimu gya Ssaabasajja okugenda mu maaso.

LANGUAGE