
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bombo – Bulemeezi
Abalangira ab’enjawulo nga bakuliddwamu Jjaaja w’Olulyo Olulangira Omulangira Luwangula Basajjansolo Ssalongo bavumiridde abantu abalemedde ku ky’okwesenza ku ttaka ly’Obwakabaka n’ekigendererwa ky’okulyezza.
Okulabula kuno bakukoze balambula Olubiri lw’Omulangira Kawumpuli Kkubo, Katikkiro w’emisambwa okulaba omulimu gw’okuluzza obuggya wegutuuse e Buyego Bombo mu ssaza lye Bulemeezi.
Omulangira Luwangula avumiridde nnyo abantu abafubye okwesatuusiza ku ttaka ly’Obwakabaka nga batuuka n’okwookya enyumba emu mu lubiri luno.
Ono akunze abantu ba Buganda awamu n’ebweru abaagala okulambula okufaayo ennyo benyigiremu okulaba nga omulimu gw’okuzzawo embuga eno gutambula bukwaku kubanga gugenda kubera gwabyaffayo mu nsi yonna.

Ssaababiito Omulangira Walugembe Kateregga nga yakulembera Abalangira b’e Kibulala ewa Ssekabaka Wasswa Winyi Chwa Male akubiriza abazukkulu okujjukira ennyo obuwangwa bwabwe Katonda mwabategerera kubanga tewali kisiinga kubawula ku bantu balala nga bwo.
Katikkiro wa Muyego e Buyego, Omulangira Stuart Mutebi Kateregga agamba nti bbuggwe eno egenda kuzimbibwa mu mayinja era nga enteekateeka nga okuzimba ekikomera okwetoloola olubiri lwona ziwedde.
