
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Abalimisi okuva mu masaza ag’enjawulo ag’Obwakabaka babanguddwa ku nnima ey’omulembe n’engeri gyebasobola okukozesaamu ekigimusa ki Green Pulse ekyaleeteddwa okwongera ku bungi omulimu bw’afuna era bano w’Obulimi n’Obwegassi mu Bwakabaka, Owek. Amis kakomo abasabye okuteekesa mu nkola byebayize.
Obubaka buno, Minisita Kakomo abutisse Ssenkulu wa BUCADEF Omuk. Alfred Bakyusa amukiikiridde mu kuggulawo omusomo guno ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.
Owek. Kakomo agamba nti okusinzira ku kunonyereza okwakolebwa kwalaga nti ettaka erisinga likaddiye so lyetaaga okulikiriza ate mu bipmo ebijjuvu wamu n’okwegendereza yensonga lwaki Buganda yatta omukago ne Green pulse okusobola okugyawo ekizibu kino ettaka lifune obujimu.

Ono era abasabye okukuuma ebyo obwakabaka byebituukibwako ne bannamikago ab’enjawulo biganyule abantu ba Nnyinimu.
Ku lulwe, Omuk. Alfred Bakyusa agamba nti ekigimusa kino kyakuyamba abantu okufunamu, era akunze abantu bongere okulima emmwanyi baleme kuggwamu maanyi era bakyeyambise.
Omuk. Bakyusa abuulidde abalimi ku bwetaavu bw’okwambaza ennimiro zaabwe nga bagattamuemitti emirala ng’emituba emikokowe n’ebirala era balimiremu n’ebitooke kiyambe emmwaanyi zaabwe okukula obulungi.
Omukugu okuva mu Grain Pulse Ltd, Dr. Hillary Rugema yeebazizza Obwakabaka okuba ekyokulabirako, nagattako nti abantu bangi tebamanyi kutabula ddagala bo byebasanga ng’ abantu nga beetaaga okuwebwa amagezi bamanye ekituufu kyebalina okukola.
Abam ku balimisa abeetabye mu musomo guno, bagamba nti babadde basanga okusoomoozebwa olw’ebigimusa ebitatuukiridde ku katale ekibadde kiremesa abalimi nebafiirizibwa byansusso.
Kinajjukirwa nti Obwakabaka gyebuvuddeko bwasse omukaga naba Grain Pulse Ltd. nebatongozza ekigimusa kino okwongera ku mutindo n’obungi bw’ emmwaanyi.
