Abantu ba Buganda Bakubiriddwa Okunyiikira Okukola

Amawulire, Agafa e Mengo May 20, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Ggombolola ez’enjawulo okuva mu Ssaza Bugerere ne Ssingo zireese Oluwalo lwa bukadde musanvu okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka.

Ssaabagabo Kayonza, Ab’enju ya Omutaka Namuyonjo, Ssaabaddu Bbaale, Enju ya Oweek Joshua Sserufusa Zzaake, Bugerere, ne Mutuba XI Muwanga e Ssingo, be bakiise embuga.

Ku lwa Katikkiro, Owek Hajji Amis Kakomo yatikudde oluwalo luno, ategeezeza nti Oluwalo oluva mu bantu ba Buganda lwe luyamba mu kuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka era akubirizza abantu ba Kabaka okutwala ensonga y’okukiika Embuga nti kikulu ddala kya buvunaanyizibwa bwa buli Buganda bwonna okuzimba Obwakabaka.

Minisita Kakomo akubirizza abazadde okwerekereza byonna basomese abaana ng’agamba nti amaanyi g’Obwakabaka gali mu kubangula baana batambule n’embeera ya Ensi nga bw’egenda ekyuka buli kiseera ate bbo baleme kusigalira mabega.

Minisita Kakomo era azzeemu okukubiriza abakiise Embuga okulima emmwanyi era balime n’emmere emala bafune kye balya. Asabye n’abazirima okuzirabirira obulungi ng’agamba nti kati ebitundu 40% eby’emmwanyi mu Uganda bisibuka mu Buganda. Ono era agamba nti ku kulima emmwanyi abantu basaana okugattako n’okulunda kibasobozese okufuna ebigimusa ebiva mu bisolo.

Ye Owek. Israel Kazibwe Kitooke, ku Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki atali mu ggwanga, asabye abantu ba Kabaka okwongera amaanyi mu nkola y’emirimu naddala mu kiseera kino nga Obwakabaka buwese ekoona ery’emyaka 12 nga Katikkiro Charles Peter Mayiga akutte ddamula, n’abakubiriza obutaddiriza kubanga federo ey’ebikolwa egenda na bikolwa.

Omumyuka Owookubiri owa Mugerere Omw. Patrick Mugerwa aloopedde Katikkiro Enju ez’enkizo ezitambudde ne Ssaza mu kutambuza emirimu gya Kabaka, okubadde n’abenju y’omugenzi Owek. Joshua Sserufusa Zzaake eyasooka okusimba emiti gya Kabakanjagala ku luguudo Kabakanjagala.

LANGUAGE