
Bya Samuel Nkuba
Kalangala – Ssese
Abassese bakoze Bulungibwansi mu bitundu ebyabwe okwetaasa ku bujama obubadde bubazinzeeko.
Atwala ekitongole kya Bulungibwansi mu Ssese, Mw. Kwesiga Samuel ategeezezza nti obucaafu bibadde buyitiridde nebuleetera ennyanja Nalubaale okukyankalana.
Mw Kwesiga bano abasabye okudda ku nnono ey’okweyonjeza ebitundu mwe bawangalirira okuli amaka mwe basula, bizinensi zabwe mwe bakolera, ebiffo mwe beyambira baleke kujjuliza gavumenti kuba obuyonjo buyamba bbo nga Abassese.
Ono mumbeera yemu akubiriza abazadde okudda ku nnono za Buganda eza Bulungibwansi kiyambe okukuuma ebyalo byabwe nga biyonjo era kino bakiyigirize nabaana babwe olwo obuyonjo bubakuliremu.

Wano Abaami abatwala Eggombolola ez’ enjawulo balaze obukulu obuli mu bulungi bwansi mu bantu be bakulembera nga kyankizo nnyo okulembera abantu abalamu nga babakubiriza okweyonja.
Ye Mmeeya wa Kalangala Town Council Victoria Namugenyi Britton asabye Abassese okukozesa obulungi obuyumba bwa kasasiro obuliwo nga bwe bateekateeka obuggya obunaasobola omuwendo gwa batuuze abeeyongedde mu bitundu ebitali bimu mu Ssese.
Ono abasabye okwetaba mu misomu gye bateekateeka okubasomesa ku nkwata ya kassasiro mu ngeri y’okumwawula okusobola okumukolamu ebintu ebirala.
Atwala eby’obulambuzi mu Ssese Gladys Nabukenya annyonyodde Abassese nti singa banakuuma essaza lino nga liyonjo omuwendo gwa balambuzi gujja kweyongera ekinabasobozesa okugaziya ku nyingiza zabwe bonna abakkakalabiza emirimu mu Ssese.
Bulungibwansi ono ayindidde mu ggombolola ya Mutuba II Kalangala nga yetabidwamu abayizi ba bamasomero kwosa nabatuuze.