
Bya Shafik Miiro
Houma
Ssentebe wa Nkobazambogo mu ggwanga Adrian Lubyayi alambudde bannankobazambogo abawangaalira e Hoima, Masindi ne Kiryandongo naabakuutira okuwa Obuwangwa ekitiibwa.
Lubyayi asinzidde eno n’agamba ekiseera kituuse abaana ba Buganda abali ebweru wa Buganda batuukibweko era babuulirwe obuvunanyizibwa bwabwe eri Obwakabaka.
Ono abakubirizza okunyweza emisomo kuba Ssaabassajja Kabaka ayagala abavubuka abayivu era abagunjufu okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ku lugendo lwe luno, Lubyayi buli ttendekero ly’atuseeko asimbye emiti ng’akabonero k’okukubiriza abavubuka naddala bannankobazambogo okulwanirira obutondebwensi.
Akuutidde abayizi abaganda okwagala ennyo n’okusoosowaza obuwangwa bwabwe kyokka n’okuwa ekitiibwa obuwangwa bwe baasanga mu bitundu by’Ensi ebirala gye babeera bagenze.
Ssentebe Adrian Lubyayi alambudde bannankobazambogo ku matendekero okuli; Hoima School of Nursing and Midwifery, Uganda Petroleum Institute Kigumba, Uganda Cooperative College Kigumba, Nyabyeya Forestry College Masindi ne Uganda Technical College Kyema.

Mugalula James atwala bannankobazambogo abawangaalira mu bitundu bino, yeebazizza Ssentebe Adrian Lubyayi okubalambulako era nategeeza nti kibawadde okumanya nti eka babalowozaako.
Okulambula kuno kuli mu buwuufu Ssentebe wa Nkobazambogo bwaliko obw’okulambula Bannankobazambogo mu matendekero ag’enjawulo naddala ago agali wabweru wa Buganda.