
Bya Gerald Mulindwa
Kasubi – Kyaddondo
Enteekateeka z’okuddaabiriza omulimu gw’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi gutuuse ku mitendera egisembayo, era wano Katikkiro Charles Peter M ayiga wasinzidde naalabula abantu abawabya abantu ba Kabaka n’okumwonoonera erinnya.
Okulabula kuno Kamalabyonna Mayiga akukoze alambula omulimu gw’okuddaabiriza Amasiro gano okulaba wegutuuse nakakasa nti Nnyinimu musimu olw’omulimu ogukoleddwa.
Katikkiro Mayiga agamba nti ssi musanyufu ne bannakigwanyizi abamulima empindi ku mabega nga obukulembezebwe bwebutute ebbanga eddene ku mulimu guno n’abasaba balekeraawo okuwabwa abantu bakabaka.
Owek. Mayiga ategeezezza nti omulimu gw’okuzzaawo Amasiro sigwakufubutulira gulina emisoso egiyitwamu nti ekiseera bwekinatuuka nga omulimu guwedde gujja kuggulwawo.
Owek. Mayiga ategezeza nti wakyaliwo n’emirimu emirala egitanakwatibwako nga okuzimba, ebiyigo n’ekifo emmotoka wezituukira.
Ono era yeebaziza ba Nnaalinnya b’Amasiro olw’omulimu gwe bakola naddala okulambika ebirina okukolebwa mu masiro okulaba ng’obuwangwa n’ennono bigobererwa.

Katikkiro w’Amasiro gano, David Nkalubo yeebazizza Kamalabyonna Molw’obumu bwebalaze mukuzaawo amasiro g’e kasubi.
Kinajjukirwa nti omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi gwatandika mu mwaka gwa 2013 oluvanyuma lw’okukwata omuliro ne gasanaawo mu mwaka ggwa 2010.
Omukolo guno gwetabiddwako minisita w’obuwangwa n’ennono Owek. Dr. Anthony Wamala,sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, saako akakiiko k’olukiiko ak’ebyobuwangwa n’ennono n’abakulembeze abalala.