Chorus
Twesiimye nnyo, twesiimye nnyo
Olwa Buganda yaffe
Ekitiibwa kya Buganda kyava dda
Naffe tukikuumenga.
 
Verse 1
Okuva edda n'edda eryo lyonna
Lino eggwanga Buganda
Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe
Okwetoloola ensi yonna

Verse 2
Abazira ennyo abaatusooka
Baalwana nnyo mu ntalo
Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe
Naffe tulyagalenga

Verse 3
Ffe abaana ba leero ka tulwane
Okukuza Buganda
Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe
Baafirira ensi yaffe

Verse 4
Nze naayimba ntya ne sitenda
Ssaabasajja Kabaka
Asaanira afuge Obuganda bwonna
Naffe nga tumwesiga

Verse 5
Katonda omulungi ow'ekisa
Otubeere Mukama
Otubundugguleko emikisa gyo era
Bbaffe omukuumenga