
Bannabitone abeegattira mu kibiina ki ‘Sanyuka Films Uganda’ bakyaddeko Embuga ku Bulange e Mengo okwanjula firimu gye batuumye ‘Kimote’ ng’eno ekwata ku lubugo era bano Kamalabyonna Charles Peter Mayiga aliko entanda byabawadde
“Firimu ezinaakwatayo zirina ku kwata ku mbeera zaffe eza wano si bya kizungu era ekinaayamba ekisaawe kya firimu mu Uganda okukula kwe kuzannya ku bintu ebitwetoolodde, ebitukwatako mu mbeera zaffe eza bulijjo” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna wa Buganda alabudde Bannabitone nti engeri yokka gye banaasobola okuganyulwa mu mulimu gwabwe kwe kwogera obutereevu kw’ebyo ebiri mu Nsi mwe bali, kubanga bye bategeera obulungi era basobolera ddala okubizannyako obulungi lwa nsonga nti babitegeera.

Kino agamba nti kubayamba okumanyika mu bantu kibasobozese okuganyulwa mu kitone kyabwe ate olwo basobole n’okutunda ebifa mu Nsi yaabwe eri abalala okusinga ate okukoppa nabo bye batategeera bulungi.
Katikkiro asanyukidde abazannyi ba firimu “Kimote” abamwanjulidde enteekateeka z’okutongoza firimu eno era ne bamunnyonnyola n’amakulu agagirimu naddala eky’okukuuma ekyambalo ky’Olubugo n’okitunda eri Ensi.
Katikkiro agamba nti ebirowoozo by’obwakabaka ku bitone bisimbira ddala ku nteekateeka y’okusaawo Minisitule y’ebitone n’ekigendererwa eky’okukwata ku bavubuka ne bannabitone babitumbule basobole okubifunamu.

Awabudde nti bann bitone basaanye okuvaayo beerwaneko bakuze ebitone byabwe kubanga mu kiseera kino waliwo enjawulo mu katemba, bangi bafunamu ensimbi nga bayita mu kukuba obulango bwa kampuni, awonno basaanye beeyise bulungi kubanga katemba mulimu gwa magezi era gwa buyiiya. Bano abeebazizza olw’okutumbula obuwangwa.
Abby Mukiibi Nkaaga akulembeddemu aba Sanyuka Films Uganda ategeezezza nga bwe bakyalina okusomoozebwa okungi olw’obuwagizi obutono okuva mu bantu ate nga bateekamu ensimbi nnyingi mu kuzannya emizannyo gino, bw’atyo n’asaba bannayuganda ba beegatteko mu kutumbula emizannyo olwo n’ekisaawe ky’emizannyo kikule.
Mukiibi agamba nti bbo ng’abazannyi ba firimu baasalawo okubaako ne bye bakolera awamu okusobola okusiiga obulungi ekifaananyi kye baagala okulaga Ensi era agamba nti firimu eno eya ‘Kimote The Back cloth maker’ eraga olubugo n’obululu bwalwo mu Buganda. Era ono agamba baagikoledde ku mutindo gwa Nsi yonna, bwatyo n’asaba Katikkiro okubakungira abantu okubawagira okuviira ddala mu kugitongoza n’okugigula ebbanga lyonna.