Bannabulemeezi naleese Amakula ga Beene

Agafa e Mengo Apr 24, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa 

Mmengo – Kyaddondo 

Abantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka okuva mu ggombolola ya Mutuba musanvu Kaseka Bamunaanika, bakedde kukiika mbuga nebaleeta amakula ga Beene mu nteekateeka y’ okuwagira Embiriz’ Omutanda.

Amakula gano gabatikuddwa  Omutaka Ssenjobe Willy Zaabu Omukulu w’Ekika ky’Enjobe mu Lubiri e Mmengo ku Lwokuna.

Mu bubaka bwe, Omutaka Ssenjobe Willy Zaabu, awadde Obuganda amagezi ag’enkizo okusobola okulwanyisa n’okumalawo ekibba ttaka mu Buganda ekisuza abasinga ku tebuukye, nti babeeko Polojekiti ez’enjawulo zebakolera ku ttaka lino olwo bannakigwanyizi babulweko webatandikira okulibba. 

Omutaka Ssenjobe agamba nti singa abantu bakozesa bulungi ettaka lyabwe basobolera ddala okugoba obwavu nga bajjumbire eby’obulimi. 

Katikiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk. Moses Luutu, asinzidde wano n’akubira  abakulembeze ba akabondo ka Buganda omulanga, okumalawo entalo ezibali wakati naddala ezibaleetedde okujja amaaso ku mulabe gwe balwanyisa.

Omwami Ow’eggombolola ya Mutuba musanvu Kaseka Bamunaanika, Lubega Abas, wano w’asinzidde ne yeebaza Obwaakabaka olw’amaanyi ge butadde mu kusitula ebyenjigiriza mu Bulemeezi kyokka n’asaba bongere ku bbasale ze babawa olwa obwetaavu obungi obuliwo. 

Omubaka akiikirira Bamunaanika nga yakulembeddemu bannabyabufuzi baayo Ssekitooleko Robert, asabye Bannabulemeezi  okujjumbira enteekateka z’Obwakabaka ku mitendera gyonna naddala ezibakulaakulanya.

LANGUAGE