Bannankobazambogo Akalibaakendo Bafunye Obukulembeze Obuggya

Agafa e Mengo Apr 24, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Minisita w’Abavubuka mu Buganda Owek. Robert Serwanga Ssaalongo y’alangiridde abakulembeze ba Nkobazambogo Akalibaakendo abaggya ng’asinziira mu Bulange e Mengo bw’abadde asisinkanye Abayima b’ebibiina bya Nkobazambogo okuva mu masomero ag’enjawulo.

Nga 23 Mugulansigo omwaka guno, abayizi abasoba mu 140 okuva mu masomero ga siniya ag’enjawulo baakuba akalulu okulonda obukulembeze bwabwe obuggya era abo abaasukkuluma ku balala, ne bongera okwekenenyezebwa olukiiko oluluŋamya ebibiina by’Abavubuka mu Buganda okulondamu olukiiko olujjuvu.

Minisita Serwanga leero lw’ayanjudde obukulembeze obuggya era nga Miiro Akram okuva ku Kitende SS y’awangudde obwa Ssentebe ng’amyukibwa Makumbi Benjamin Isaac owa Mengo SS. Olukiiko olw’okuntikko lwa bifo 15 okuli ekya Ssentebe, n’omumyuka, Omuwandiisi w’olukiiko omuwanika, owamawulire n’okukunga, Ow’ebyemizanyo n’ebitone n’ebifo ebirala.

Minisita Robert Serwanga akulisizza abawangudde obuvunaanyizibwa obw’enjawulo kyokka akubirizza abakulu b’amasomero n’abazadde okuddamu okwettika obuvunanyizibwa bwokutendeka abaana obuwangwa bwabwe, kibayambe okukula nga balina empisa ate nga bamanyi ku buwangwa n’ennono zaabwe.

Wano yeebazizza obukulembeze bw’amasomero agalimu ekibiina ki Nkobazambogo ng’agamba nti kino kiwa omukisa eri abaana okumanya ku buwangwa bwabwe n’okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka.

Owek. Serwanga akubiriza abakulembeze abalondeddwa mu bifo ebyenjawulo okubeera abeesimbu eri bannaabwe ababataddemu obwesige ate n’okukola obutaweera okukuuma n’okutaasa Nnamulondo kubanga obukulembeze bwabwe Buganda bwe yesigamyeko mu biseera ebijja.

Ssentebe w’Olukiiko oluluŋamya ebibiina by’Abavubuka mu Buganda ate era nga mukiise wa Nkobazambogo mu lukiiko lwa Buganda olukulu Owek. Rashid Lukwago akulisizza abakulembeze abaggya era ategeezezza nti baakwongera okubanguka ku kye balina okukola kubanga ekiruubirirwa ekikulu kwe kuteekateeka Eggwanga ery’enkya eddamu. Akikaatiriza nti abakulembeze abalungi bateekebwateekebwa bakyali bato.

Omukwanaganya w’Abavubuka mu Buganda Owek. Kiyemba Hassan ayogedde ku bukulu bw’Abayima b’ekibiina bya Nkobazambogo mu masomero, era abasabye okuyamba ko abayizi okulambika mu bintu ebyenjawulo n’okufuba okukwatagana ne Minisitule y’abavubuka mu Bwakabaka okulaba nti abayizi batuusibwako enteekateeka z’Obwakabaka zonna.

Ssentebe w’Olukiiko lw’Abayima Umar ba Nkobazambogo yebazizza enteekateeka y’Obwakabaka okusisinkana abayima, ky’agambye nti kyongera okubazzaamu amaanyi era wano wasinzidde b’akunga amasomero okwongwera okunnyikiza ebibiina bya Nkobazambogo mu masomero ate n’okubiwandiisa ne Minisitule y’abavubuka mu Bwakabaka.

Abakulembeze abaggya abalondeddwa baakukuba ebirayiro nga 13 Muzigo olwo batandike emirimu gyabwe mu butongole.

LANGUAGE