Bannankobazambogo bakaalatiddwa okwagala obuwangwa bwabwe 

Ebyenjigiriza Apr 18, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa 

Katende – Mawokota 

Bannankobazambogo bakaalatiddwa okwagala obuwangwa bwabwe era babunywerereko bwebaba baagala okugenda mu maaso.

Entanda eno,  Oweek Andrew Mulwana Kizito, agiwadde abayizi abeegattira mu kibiina kya Nkobazambogo ku ssomero lya St. Maria Gorret e Katende mu Mawokota ku Lwokuna. 

Oweek Mulwana agamba nti enneeyisa, enjogera, ennyambala, wamu n’okusoosowaza olulimi oluganda, nsonga nkulu nnyo ezisaana okussibwako essira olw’obukulu bw’azo mu kunyweza obuwangwa bw’Abaganda, n’olwekyo kiri eri bannankobazambogo okuzirwanirira. 

Obugenyi buno we bujjidde nga abavubuka okuva mu Masaza ga Buganda kye bajje bakiike embuga ne batwalira Omutanda ebirabo bye yasiima ne bifuuka amakula, era enteekateeka eno yatembeetebwa Minisitule y’Abavubuka mu bwakabaka okwongera okunnyikiza obuvunaanyizibwa bwa Abavubuka mu kukuuma n’okutaasa Namulondo. 

Ssentebe w’Abavubuka mu Ssaza Mawokota, Maria Nalwanga, naye aliko obubaka bw’abawadde abayizi bano. 

Sister Nakabuye Prossy, amyuka omukulu w’essomero, y’akiikiridde omukulu w’essomero ku mukolo guno ogwetabiddwako omubaka omukyala owa Mpigi District Hon. Nambooze Teddy.

LANGUAGE