Beebazizza Katonda olw’obulamu bw’Omulangira Omubuze Ssimbwa David Alexander, bamutenderezza olw’ omukwano gweyalaga

Agafa e Mengo Apr 12, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Abakungu ab’ enjawulo  mu Bwakabaka, emikwano n’ enganda abeetabye ku kusaba kw’ okwebaza Katonda olw’ obulamu bw’ Omulangira omubuze Ssimbwa David Alexander n’Omuzaana Mary Nankumbi Ssimbwa.

Mu bubaka bwe Ssaabasajja obwetikiddwa,  Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Nnyinimu ayogedde ku mulangira Ssimbwa ng’omuntu eyali omukakkamu, ow’ekisa, omwetowaze, ayaniriza abantu, era ng’awagira Obwakabaka okubeera obunywevu.

Beene ategeezezza nti Ssimbwa yayagala nnyo Ensi ye bwatyo naasaba abantu okumulabirako.

Omulangira Ssimbwa David Alexander yali Muganda wa Ssekabaka Muteesa II era Mutabani wa Daudi Chwa II.

Ono  ayogerwako nnyo okuba nti teyakoma kubeera muganda wa Kabaka Muteesa II kyokka, wabula yali mukwano gwe ddala, nga bagenda mu okuyiga bombi, okwetaba mu mizannyo bombi n’okumuwagira mu mirimu gye nga Kabaka, era yalwanirira Obwakabaka mu biseera by’akasambatukko ebya 1966.

Omulangira Ssimbwa era yaliko omukiise wa Uganda mu Ggwanga lya China.

Akulembeddemu omukolo gw’ okusaba Rev. Henry James Lukyamuzi akubirizza abantu bulijjo okutuukirizanga obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe nga bali ku Nsi olwo n’Ensi esigale ng’ebajjukira ne mu biseera nga bagivaamu dda.

Omukolo guno gwetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Bannaalinya, Abalangira n’Abambejja, Bakatikkiro Abaawummula Owek. J.B Walusimbi n’Owek. Dan Muliika n’abantu abalala.

LANGUAGE