Bya Musasi waffe
Obwakabaka bwa Buganda bukyazizza omubaka wa Pulezidenti ku byobulambuzi n’Obusuubuzi, Amb. Rosa Malango mu kwongera okutunuulira okutumbula ebyobulambuzi mu Buganda.
Ku bugenyi buno, Malango n’abamuwerekeddeko balambuziddwa ebimu ku bifo by’Obwakabaka eby’ebyafaayo okuli; Olubiri lw’e Mmengo, Bulange ewali n’ekisenge ky’olukiiko lwa Buganda, oluguudo Kabakanjagala n’ebufo ebirala.

Malango atenderezza ebyobulambuzi bya Buganda, n’ategeeza nti wateekwa okubaawo engeri y’okuvumbulamu ebyafaayo bya Buganda wamu n’okubyagazisa abantu nga kino kikolebwa mu ngeri etuukana n’omulembe guno.
Malango agamba nti baakulambula ebyobulambuuzi bya Buganda ebyenjawulo okutuukira ddala mu mwezi ogw’omukaaga era bwatyo akikaatiriza nga ebyobulambuzi bwebiri eby’enkizo ennyo mu Uganda n’Ensi yonna.
Omuk. Najib Nsubuga Ssenkulu wa BHTB alaze esaanyu olw’okukyaza ambassador Malango ng’agamba nti kano kabonero ku kwongera okutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga era ategeezeza nti ensisinkano eno yakuvaamu ebibala okulaba engeri Obwakabaka gye bulina okwongera okutumbulamu ebyobulambuuzi nga buli n’omubaka ono.
Nsubuga agamba nti nga ekitongole basanyukidde nnyo ebiruubirirwa bya Ambassador ono nga ebimu ku bino kwe kulaba engeri y’okunyumyamu emboozi za Buganda ez’edda era agamba nti nga baakusooka n’olugendo lw’abajjulizi ba Uganda n’emboozi endala nnyingi. Ategeezezza nti beteefuteefu okulaba nga bakwataganira wamu ne ambassador ono ebirowoozo ebibawereddwa nga ekitongole bagenda kubiganyulwamu.

Mathew Nabwiso, ono muzannyi wa firimu atambudde ne Amb. Malango, agamba nti bogerezeganyiza n’aba BHTB ku ngeri gye balina okumanyisaamu abantu emboozi n’ebyafaayo bya Buganda nga bazoogerako wamu n’okwogera ku by’Obuwangwa n’ennono za buganda babyagazise abantu. Ono agamba nti bbo ng’abazannya firimu beesunga okuweebwa omukisa n’olukusa okufuula ebyafaayo bya Buganda ebimanyifu mu Nsi yonna.
Rosa Mbuamangongo Malango Dyombe munnansi wa Equatorial Guinea yaliko akulira obukiiko bw’ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations obutaba amawanga ga Africa, Asia, America, Europe ne Middle East. Ono yaliko omukwaganya wa UN ne Uganda okuva mu 2016 – 2021.