
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka Owek. Robert Serwanga akubirizza abavubuka obuteetulako wabula buli omu akole kyalinamu obumanyi okwekulaakulanya n’okugatta ku kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.
Owek. Serwanga bino abyogedde asisinkanye abavubuka abazannyi ba firimu nga bano bazze Embuga okugunjawo enkolagana enaabasobozesa okufuna ebyafaayo ebikwata ku Buganda n’okusaba olukusa okuzannya ku bikwata ku Buganda eby’enjawulo wamu n’okukwatira ebifaananyi mu bifo bya Buganda eby’enkizo eby’enjawulo.

Minisita Serwanga ategeezeza nti Obwakabaka bujja kuwagira bannabitone bano kubanga Ssaabasajja Kabaka yasiima abavubuka abalina ebitone bayambibwako okubivumbula, okubikozesa obulungi n’okubifunamu ensimbi.
Minisita Noah Kiyimba y’ayanjudde abavubuka eri Minisita w’Abavubuka nga bano ye yasooka okubasisinkana ku lwa Katikkiro, b’amutuma abatuuse ku Minisita abatwala alabe Obwakabaka bwe bubakwatizaako okutumbula ebitone byabwe.

Abavubuka bano nga bakulembeddwamu Omulangira Kkolobe Siraje, ategeezeza nti balina ebibiina eby’enjawulo ebizannya firimu nga buli kimu kirina ba mmemba abasukka mu 30, ekibayamba okubeera n’emirimu mwe abaggya ensimbi ate n’okukuza ebitone byabwe, basabye Obwakabaka okubakwatizaako okusobola okutumbula ekisaawe ky’ebya firimu.