
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Rotary ekwataganye n’Obwakabaka bwa Buganda okutumbula ennyingo zaayo omusanvu, era waliwo ebituukiddwako mu nsisinkano eyindidde mu Bulange e Mengo.
Banna-Rotary baliko ennyingo 7 ze basimbyeko essira okutambulizaako obuweereza bwabwe ng’ekibiina nga zino kuliko; okutumbula emirembe n’obutebenkevu, okulwanyisa endwadde, okubunyisa amazzi amayonjo, okukubiriza obuyonjo, okutaasa abakyala ab’embuto n’abaana, okuwagira eby’enjigiriza, okutumbula enkulaakulana enkulaakulana mu bantu abasookerwako n’okutaasa obutondebwensi.
Enteekateeka ya Rotary okutambula n’Obwakabaka ku nnyingo zino etongozeddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, mu nteekateeka eno ekibiina kya Rotary kigenda kutuusa empereeza ez’enjawulo eri abantu ba Buganda okumala emyaka esatu nga byonna byakutandika n’olusisiira lw’ebyobulamu mu ssaza Mawokota.

Owek. Waggwa ng’ono yaliko ‘Governor wa Rotary’ mu Uganda ne Tanzania, yeyamye ku lw’Obwakabaka nti Buganda egenda kutambulura wamu ne bannakibiina kya Rotary okuggusa omulamwa gwe baliko ogw’okubunyisa ennyingo zino mu bantu bonna ng’agamba nti zigwa butereevu mu nteekateeka nnamutayika y’Obwakabaka 2023-2028.
Owek. Waggwa agamba nti enkolagana y’Obwakabaka ne Rotary mu bbanga eriyise evuddemu ebibala bingi naddala mu byobulamu, n’okutaasa obutondebwensi, era nti kati enteekateeka eno ezze egenda kwongera amaanyi mu nkolagana eriwo kubanga esuubirwa okunnyikiza n’ebintu ebirala bingi ebisaanidde okukolebwako.
Ye Omuk. Victoria Kayaga Kiggundu nga yakulembeddemu Banna-Rotary abazze mu nteekateeka eno agamba nti mu myaka esatu baluubirira okutuuka ku bantu mu bitundu eby’enjawulo mu Buganda baganyulwe mu nnyingo zino omusanvu (7). Ono akunze abantu okunjumbira enteekateeka zonna ezinaabategezebwanga nga batandika n’okubaawo mu bungi mu lusiisira lw’ebyobulamu ku lwomukaaga nga 12/07/2025 ku Bujjo Primary School.
Ebibiina bya Rotary musanvu (7) bye bikulembeddemu mu nteekateeka eno okuli; Kampala Early Bird, Saturday E Jazz, Kampala Impala, Kampala Morning Stars, Sonde, Kira ne Nsasa.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Ssenkulu w’Ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Bwakabaka Omuk. Najib Nsubuga, Hon. Mike Kennedy Ssebalu, bannalulungi ba Buganda ab’enjawulo nga bano batuunuliddwa nnyo okubunyisa enteekateeka eno mu Masaza gye basibuka, olwo nga bwe beegatibwako n’abantu abalala.