Buganda Royal Institute etikkidde abayizi 1261: Katikkiro Alaze obukulu bw’abavubuka mu kuzimba eggwanga

Amawulire Jan 30, 2026
Share This

Bya Maria Gorreth Namisagga

Kakeeka – Mmengo

Ettendekero ly’Obwakabaka, Buganda Royal Institute lifulumizza abayizi 1261 nga ku bano, 736 bawala ate nga 525 balenzi. Abayizi 637, batikkiddwa ku ddaala erya Satifikeeti ate 420 batikkiddwa ku ddaala erya dipulooma, abalala 204 basomye amasomo era ne babuuzibwa ekitongole kya UVTAB.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, akulembeddemu okutikkira abayizi, mu kwogera kwe asabye abayizi okutwala ebbaluwa ze bafunye nga kikulu kyokka abakuutidde okumanya nti ekinaabawanguza kwe kukulembeza enneeyisa ennungi yonna gye banaakolera emirimu.

Owoomumbuga akubirizza abatikkiddwa nti nga tebannaba kwesunga kwekozesa, balina okusooka bakozesebwe nga beekwaata kw’abo abalina obumanyirivu, basooke babayigireko olwo nabo batandike okwekozesa.

“Abavubuka gwe mutima gwa Uganda, era ky’ekyobugagga ekisinga Uganda ky’erina ssi mafuta oba zaabu. Ensi yonna okukula kisinziira ku bavubuka abagimu n’obukugu bwe balina; ate bino byesigama ku bunyiikivu ne kw’ebyo abavubuka bye basalawo okukola” Katikkiro Mayiga. Ategeezezza nti abavubuka ababanguddwa, nga bakozi, basobola okwezimba ne bazimba n’Eggwanga. Bwatyo ayozaayozezza abayizi abatikkiddwa era abafunye obukugu obw’enjawulo.

Ye Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko asabye abatikiddwa naddala abo ababadde bayambibwako ensawo y’Obwakabaka, nabo okuvaayo okukwasizaako bannaabwe abatasobola nabo okufuna omukisa okuyitako mu ssomero, basobole okweyimirizaawo. Ategeezezza nti balina enteekateeka mu Minisitule okulaba nti bonna abayiseeko mu nteekateeka ya Kabaka eno baddamu okuleetebwa awamu nabo okugatta okubaako kye bateeka mu nsawo ya Kabaka.

Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olw’ettendekero lino Dr. Kasozi Mulindwa asiimye nnyo Ssaabasajja olw’okulengerera ewala n’atandikawo ettendekero lino, bwatyo n’ategeeza abatikkiddwa nti essomero libabangudde kati kisigalidde eri bbo okukola ebyo ebibatendekeddwa, okusobola okukola emirimu eginaweesa ettendekero ekitiibwa.

Ssenkulu w’ettendekero, Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu, yebazizza abazadde ne Bannamikago abawagidde ettendekero ly’Obwakabaka mu kutuukiriza omulimu ogwalitandisaawo og’wokuwa abantu obukugu mu kukola ebintu eby’enjawulo. Ono ayanjudde enteekateeka y’ettendekero lino ey’okuzimba ekizimbe gagadde ekigenda okukomekkerezebwa mu mwaka 2028, nga kigenda kutuuza abayizi abali eyo mu 500.

Abayizi 18, be bayitidde mu ddaala erisooka, ng’abayizi Babirye Angel ne Ssekweyama Expedito be bakize ku bonna era baweereddwa ebirabo okubakulisa.

Amatikkira gano getabiddwako abantu ab’enjawulo okuli abakungu mu Gavumenti ya Kabaka, Abakulira Ebitongole by’Obwakabaka, Abakungu okuva mu Gavumenti eya wakati, bannabyabufuzi , bannabyanjigiriza, abazadde abayizi awamu n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE