Buli kaseera wegatteko omutindo okusobola okubeera ow’enjawulo – Prof. Kaawaase

Ebyenjigiriza Mar 15, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Kampala – Kyaddondo

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asabye Abantu bulijjo okwegattako omutindo nga bongera kwebyo byebamanyi kibayambe okufuuka abenjawulo.

Okwogera bino abadde yeetabye ku mukolo Omuk. Leticia Nakimuli kwe yeebalizza Katonda olw’okumusobozesa okwewangilira obwadokita obw’ebitabo oluvannyuma lw’okufuna PhD okuva ku Uganda Management Institute.

Owek. Kaawaase agamba nti omuntu buli kaseera alina okuluubirira ekisinga kimuyambe okusobola Ensi ejjudde okuvuganya. Yebazizza Omuk. Nakimuli olw’okwewaayo n’addayo okusoma ate nga bw’akola n’emirimu, kino agamba nti omuntu ow’obuvuanyizibwa era amanyi ky’ayagala. 

Ono era akubirizza Nakimuli okwongerayo okusoma obutakoma wano Ensi eyongere okumuyaayaanira.

Ye Minisita w’Ebyenjigiriza Owek. Choltilda Nakate Kikomeko yeebazizza Omuk. Leticia olw’okuweereza Obwakabaka n’obuvumu ate n’afaayo n’okwongera okwesitula ng’omuntu.

 Ategeezezza nti nga Minisitule baluubirira okulaba nga buli ekikolebwa kyongera kulinyisa mutindo era akakasizza nti Omukungu Nakimuli ekifaananyi akiggyeyo bulungi.

Omuk. Leticia Nakimuli ye mukwanaganya w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka era yaliko Ssenkulu wa Buganda Royal Institute.

 .

LANGUAGE