
Bya Samuel Stuart Jjingo
Namirembe – Kyaddondo
Abakiriza bakunganidde ku Lutikko mu Kkanisa ya Pawulo Omutukuvu e Namirembe okwetaba ku mukolo gw’ okutuuza Dean wa Lutikko ow’ekkumi Rev. Can. Dunstan Kiwanuka Mazinga ne Maama Rev. Can. Lovincer Kiwanuka era bano Katikkiro Charles Peter Mayiga abasuubizza obuwagizi n’enkolagana ennungi.
Omukolo guno ogutandise n’ okusaba era wano Katikkiro Charles Peter Mayiga abayoozayozeeza okwetikka obuvunanyizibwa buno era naabasuubiza obuwagizi n’ enkolagana ennungi, mu bubaka bwatisse omukubiriza w’ Olukiiko lwa Obuganda, Owek.Patrick Lukwago Mugumbule.

Kamalabyonna Mayiga abajjukizza nti ebifo ebikulu mu Buganda bisangibwa mu Bulabirizi bwe Namirembe omuli embiri za Kabaka nebifo ebirala eby’enkizo nga bwekityo balina okutambulira awamu.
Akulembeddemu okubulira enjiri Rev. Can. Augustine Musiwuufu Magala nga yaliko Dean wa Lutikko eno, asabye abakristu okulabirira Dean omuggya asobole okuggumira mu kifo kino awatali miwaatwa gyonna.
Rev. Magala akowoodde Ababulizi b’enjiri okussa ekitiibwa mu Bwakabaka nga bakuuma ettaka ly’Obwakabaka awamu n’eryekkanisa.
Ono era asabye bannaddini okuvaayo okwogera ku nsonga ezinyigiriza abantu okugeza nga okuwa ekitiibwa abasibe abakosefu nga Besigye n’okuzimba enguudo baleme kwemalira ku kunyumira kigambo kwokka.

Oluvannyuma lw’okutuuzibwa Omulabirizi Omulabirizi Rt. Rev Moses Bbanja mu butongole Dean Omuggya aweze okussa amaanyi mukukulaakulanya ekkanisa nga atandikira mu kuzimba essomero ly’abaana abato (Sunday School) lisobole okuvamu abantu abalina ensa.
Omukolo guno gwetabidwaako abantu ab’enjawulo okubadde Omulabirizi Rt. Rev. Moses Bbanja, abalabirizi b’Ekkanisa abawumula, Omuk. Gerald Ddamulira, Omuk. Canon John Fred Kazibwe, abalamuzi okuva mu ssiga eddamuzi, abakungu okuva mu gavumenti ey’awakati ne Mengo n’abantu abalala bangi.