“Ebbeeyi y’emmwanyi tugitaasa na kunywa kaawa”

Amawulire Jul 10, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akunze abantu ba Buganda ne Uganda yonna okujjumbira okunywa kaawa kiyambeko okugaziya akatale k’emmwanyi n’okutaasa ebbeeyi etandise okugwa.

Katikkiro okwogera bino asinzidde mu Bulange e Mengo bw’abadde asisinkanye abakulu okuva mu kkampuni ya Mwanyi Terimba Ltd, kkampuni y’Obwakabaka esuubula emmwanyi n’esiika kaawa amanyiddwa nga ‘Kaawa Mpologoma’ ate nga etunda n’emmwanyi ebweru w’Eggwanga.

Kamalabyonna mu bigambo bye alaze nti ekimu ku biviiriddeko ebbeeyi y’emmwanyi okukka ensangi zino be Bannayuganda okuva nti tebannajjumbira nnyo kunywa kaawa ekiviraako emmwanyi za Uganda obutabeera na katale kamala.

“Bwe tuba twagala okunyweza akatale n’ebbeeyi y’emmwanyi ereme kugwa, abantu twagala beemanyize okunywa kaawa, okugeza Uganda y’emu ku Nsi ezisinga okulima amatooke mu Nsi yonna, naye tetulina kizibu kya katale ka matooke kubanga amatooke tugeelira” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna agamba nti Uganda etunda emmwanyi nnyingi ebweru wa Uganda okusinga Ethiopia kyokka Ethiopia esinga Uganda okufuna Ssente mu mmwanyi kubanga Bannansi baayo banywa nnyo kaawa okusinga abaawano. Wano ategeezeza nti Obwakabaka bwatongoza kaweefube w’okugangisa okunywa kaawa mu 2023 nga buluubirira okwongera ku bungi bw’abantu abanywa kaawa n’obungi bwa kaawa anywebwa.

Katikkiro ategeezeza nti mu mwaka gwa 2020, Obwakabaka bwatandikawo kkampuni ya Mmwaanyi Terimba Ltd okusobola okutuuka obutereevu mu katale k’emmwanyi, era kkampuni eno esiika ne kaawa ali ku mutindo. Alaze egimu ku miganyulo gy’okunywa kaawa nga; okuleeta amaanyi mu mubiri, okwogiwaza obwongo, okugoba omugejjo, okutaasa ku ndwadde nga sukaali, ekibumba n’emirala.

Abakulu okuva mu Mwanyi Terimba Limited Katikkiro baasisinkanye kubaddeko; Ssentebe wa bboodi ekulembera ekitongole kino Omuk. Daniel Damulira, Omumyuka we Ssebagala Lusiba, Ssenkulu w’ekitongole Omuk. Charles Kironde n’abakozi abalala.

LANGUAGE