Ekisaakaate 2025 kigaddwawo: Katikkiro akubirizza abantu okweyambisa Tekinologiya okutumbula obuwangwa

Amawulire Jan 18, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Bombo – Bulemeezi

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde eno n’ategeeza nti waliwo obweraliikirivu obwa tekinologiya okunafuya obuwangwa olw’engeri abantu gye bamukozesaamu. Ono agamba nti abantu bamala ebiseera bingi ku bintu bya tekinologiya naddala essimu ekiviiriddeko okusulawo ebintu ebirala.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akubirizza abantu mu kifo ky’okukozesa obubi tekinologiya, bamweyambise okufuula obuwangwa obuganzi.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde aggalawo Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekya Gatonnya 2025 e Bombo mu Bulemeezi ku Lwomukaaga wansi w’ omulamwa,’Okukwanaganya Obuwangwa n’ Ennono.’

Owek. Mayiga akkaatirizza ensonga y’Ebika okubeera n’ebibanja ku mitimbagano abantu kwe basobola okumanyira ebibwakatako mu bwangu.

Mu ngeri y’emu asabye abazadde obutaleka baana kutambulira ku ntoli za tekinologiya ne beerabira n’abantu oba okukola emirimu emirala, agamba nti kirungi abaana babeereko ne ŋŋanda zaabwe, emikwano wano n’okuzannya ku mizannyo egitali gya ku ssimu oba ebyuma bikalimagezi.

Bw’ abadde ayogerako eri Abasaakaate Nnaabagereka Sylvia Nagginda naalabula abazadde n’abaana ku nsonga y’ebiragalalagala by’agambye nti bikosa nnyo abantu mu mbeera z’obulamu bwabwe n’olwekyo bisaana okulwanyisibwa awatali kussa mukono, era ategeezeza nti y’emu ku nnyingo eziteekebwako ennyo essira mu Kisaakaate.

Nnaabagereka akubirizza Abasaakaate okukozesa bye bayize mu ngeri ey’omugaso eri bbo kennyini ate n’okuyigiriza bannaabwe abatafunye mukisa kubeera mu Kisaakaate.

Yeebazizza abazadde abawaayo abaana baabwe okugunjulwa wamu n’abantu bonna abakola kye basobola mu kwewaayo okulaba ng’omwana w’Eggwanga agunjulwa.

Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ku mukolo guno kw’asabidde abantu bulijjo okusoosowazanga okusiga mu baana empisa nga bukyali ng’agamba nti omwana kyakula alaba oba ekimuyigirizibwa mu buto tasobola ku kyerabira. Wano weyebalizza Nnaabagereka olw’okutandikawo Ekisaakaate ekiyambye ennyo mu kuteekateeka abaana b’Eggwanga naddala mu mpisa ez’obuntubulamu ezibayamba okubeera ab’omugaso mu Nsi.

Omwami w’Essaza Bulemeezi, Kkangaawo, Ronald Mulondo ayanirizza abantu ba Kabaka mu Ssaza Bulemeezi era n’asiima nnyo eky’embuga y’Ekisaakaate okukubwa mu ssaza eryo ky’agambye nti kyongera okusitula emitima gy’abantu naddala mu nsonga zonna ez’Obwakabaka. Yebazizza enteekateeka zonna

Omutandisi w’ essomero lya St. Janan ewabadde embuga y’ Ekisaakaate, Omuk. Mike Kironde, atendereza obulungi obuli mu Kisaakaate ng’agamba nti naye ku baana ababe nabo ababadde mu Kisaakaate abalabyemu enkyukakyuka ey’amaanyi ate mu kiseera ekitono. Ayongeddeko nti n’empisa ezooleseddwa abaasaakate zibadde za njawulo nnyo ate nga balaga okwagala n’okufaayo okuyiga ebibasomesebwa. Ayongedde okusiima enteekateeka y’Ekisaakaate era agambye nti omulyango ewuwe gujja kubeeranga muggule ebbanga lyonna okutegeka Ekisaakaate.

Ku mukolo gw’okuggalawo Ekisaakaate kino, Katikkiro yasoose na kuggulawo ekisenge abaana mwe basomesezebwa enkozesa y’ebyuma bikalimagezi ate Nnaabagereka agguddewo ekizimbe okusomesezebwa ebya ssaayansi nga bano oluvannyuma baalambudde emiddaala abasaakaate kwe boolesereza ebyo bye bayize mu Kisaakaate okuli okukola emigaati ne kkeeki, ebiruke n’ebirala.

Abasaakaate era booleseza n’ebirala bye bayize okuyita mu nnyimba, amazina, emizannyo, okutontoma n’ebirala era Abasaakaate abasinze ku balala mu bintu eby’enjawulo baweereddwa n’ebirabo.

LANGUAGE