Ekizimbe ‘Sarah Kisosonkole Mall’

Amawulire Jun 28, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Kireka – Kyaddondo

Ab’ekkanisa y’omutukuvu Stephano bategese emisinde mubunabyalo ng’emu ku nteekateeka y’okusonderako ensimbi okumaliriza ekizimbe ky’ebyobusuubuzi ekyabuddwa mu Namasole Sarah Kisosonkole.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’Omumyuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Hon. Jessica Alupo be basimbudde abaddusi okuva mu kisaawe ky’Ekkanisa okwetoolola ebifo ebirinaanye ekkanisa, bano badduse mu miteeko esatu (3), kilomita; 3, 5 ne 10.

Hon. Jessica Alupo asoose kwogerako eri abaddusi era asiimye nnyo enteekateeka y’ekkanisa eruubirira okusitula ebyenfuna byayo okusobola okuvujjirira emirimu gy’ekkanisa n’okukulaakulanya Abakristu.

Hon. Alupo asinzidde wano ne yeyanza Kabaka Ronald Muwenda Mutebi azaalibwa olw’okubangawo enteekateeka ezikulaakulanya abantu be ate n’Eggwanga lyonna okutwaliza awamu, ono atenderezza kaweefube wa Emmwanyi Terimba, emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka engeri gye gizuukusiza abantu mu byobulamu bwabwe naddala okulwanyisa mukenenya n’ensonga endala.

Hon. Alupo agamba nti emisinde gino gya mugaso nnyo eri abaddusi ku lw’emibiri gyabwe n’obulamu obulungi, ate n’okuwagira omulimu gw’enkulaakulana ku kkanisa yaabwe. Ono bwatyo ategeezezza nti Nnaabagereka bwe yamutegeeza ku nteekateeka eno ey’okuzimba, yategeezaako Pulezidenti Museveni era ono n’asuubiza obukadde 100 eri omulimu guno ate ye ku lulwe, Hon. Alupo asuubiza obukadde 20 ku mulimu guno okumalirizibwa. Yebazizza Nnaabagereka olw’okuwagira enteekateeka ez’enkulaakulana mu bantu.

Omusumba w’ekkanisa eno Esau Bbosa Kimanje ategeezezza nti balina essuubi mu kifo kino ekizimbibwa okubayamba okutumbula ebyenfuna ku kkanisa yaabwe, kibayambe okwongera okutuusa obuweereza mu bakristu n’okutambuza emirimu egy’ekkanisa naddala egy’enkulaakulana. Ono yebazizza Nnaabagereka, Pulezidenti n’Omumyuka we ababadduukiridde ku mulimu guno era agamba essuubi libeeyongedde nti gujja kugguka.

Ye Omukubiriza w’Abakristu mu kkanisa eno, Ssaalongo Kasibo Joshua ategeezezza nti omulimu guno gubalirirwamu ensimbi za Uganda obuwumbi munaana (8) era omulimu gwatandikibwako, omusingi ne gumalirizibwa era kati baagala kutandika kusitula bisenge. Ono naye yebazizza enkata Pulezidenti gy’abakubye n’Omumyuka we, era ayongedde okukunga abantu okukwatiza awamu okuggusa omulimu guno.

Ekizimbe Sarah Kisosonkole Mall kizimbiddwa kubeera kya byabusuubuzi era kirinanye ekkanisa, kisuubirwa okubeerako amaduuka, wooteri, woofiisi n’ebirala.

LANGUAGE