
Bya Miiro Shafik
Mmengo – Bulange
Kkampuni ya Airtel Uganda ng’eyita mu mukago gwayo n’Obwakabaka okuyita mu K2 Telcom bazzeemu okutendeka abavubuka abagenda okubunyisa empeereza za kkampuni eno. Bino bibadde mu Bulange e Mengo.
Enteekateeka eno etunuulidde abavubuka 100 mu zi ssettendekero n’amatendekero ag’enjawulo, nga Airtel eyagala abavubuka bongere okwettanira empeereza zaayo ate nga nabo bafunye emirimu okusobola okubaako n’ensimbi ezisookerwako ze bafuna.
Obwakabaka bwa Buganda mu mbalirira ya 2025/2026 bw’alaze engeri gye bugenda okusoosowaza abavubuka era enteekateeka eno y’emu kw’ezo Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ze yategeeza Obuganda nti zitunuuliddwa okuwa abavubuka mu Buganda emirimu.
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga y’agaddewo omusomo guno era akubirizza abavubuka okukozesa obulungi emikisa gyonna egibajjira beekulaakulanye. Annyonyodde nti buli muntu asitula embeera ze, asooka kweyambisa mikisa egyo gy’afuna n’agenda ng’azimba mpola mpola okutuuka ku buwanguzi.
Minisita Serwanga akubirizza abatendekeddwa okubeera abeesimbu, abeerufu era abesigwa mu kutuukiriza obuvunanyizibwa obubaweereddwa, olwo lwe bajja okwongera okulinnya amadaala mu by’emirimu. Abakubirizza okweyisa bulungi yonna gye bawangaalira n’okuyisa obulungi abo be bagenda okuweereza basobole okugaziya akatale kaabwe.

Omukwanaganya w’Abavubuka mu Buganda Owek. Hassan Kiyemba ategeezezza nti enteekateeka eno eyongeddwamu amaanyi mu kiseera kino n’amatendekero ag’awaggulu gateekateeka okuwandiisa abayizi abapya ng’annyonnyola nti kiwa omukisa okufuna abantu abaggya abeeyunga ku Airtel, ate n’abo abagiriko okubategeeza ku mpeereza empya ez’enjawulo ezireeteddwa kkampuni.
Musoke Joseph, kitunzi okuva mu Airtel Uganda ategezeeza nti abavubuka bangi basoomoozebwa okufuna emirimu nga bamaze emisomo era batunuulidde enteekateeka okulaba ng’eriko abavubuka beganyula okufuna bye bakola ate nga ne kkampuni ya Airtel ekula.
Musoke agamba nti enkola eno yakwongera okutambuzibwa buli mwaka eganyule abavubuka abaggya buli kiseera ababeera bayingidde mu ssomero. Ono ategezezza nti enteekateeka eno y’akuzimba abavubuka okubeera abakozi era abayiiya baleme kukaluubirizibwa nga bavudde mu masomero.
Abavubuka abatendekeddwa bagenda kuweebwa ebikozesebwa ebyenjawulo okusobola okuggusa emirimu egibaweereddwa.
