
Bya Miiro Shafik
Wankulukuku – Kyaddondo
Emizannyo gy’Ebika by’Abaganda 2025 giguddwawo mu butongole n’omupiira ogw’ebigere wakati Ngabi Nnyunga na Kasimba mu kisaawe e Wankulukuku.
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kuggulawo emizannyo gy’omwaka guno atenderezza omutindo ogw’oleseddwa abazannyi b’Ebika ebiguddewo era agamba nti kino kyongera okulaga okukula kw’emizannyo gy’Ebika.

“Okulinnya kw’omutindo mu mupiira gw’Ebika mukisa munene nnyo eri abavubuka okuvumbula ebitone byabwe, tukubiriza n’abalabi okujjumbira okulaba emizannyo gy’Ebika kubanga tulina enteekateeka nnyingi okutumbula ebyemizannyo mu Bika” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna Mayiga yebazizza Ebika byonna ebyewandiisizza okwetaba mu mizannyo gy’omwaka guno n’ebyo ebiyisiza ebivvulu mu kisaawe, ono akikaatiriza nti Ebika ke kalambe k’Abaganda era ke kafuula na Kabaka Ssaabataka. Bwatyo akubirizza abazzukulu okwongera okuwagira ebika byabwe

Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga atangaazizza ku nteekateeka y’emizannyo gy’Ebika omwaka 2025. Ategeezeza nti emizannyo gy’atandika nga 26 n’okubaka era Ebika 20 byavuganyiza mu kisaawe e Namboole ne kuyitako nnya (4) ezatuuse ku nzannya ez’akamalirizo, era Nnyonyi Nnyange yeddiza Engabo gye yatwala n’omwaka oguwedde.
Ssaalongo Serwanga ategeezeza nti omuzannyo gw’omupiira gw’ebigere ogutandise nga 03/05 e Wankulukuku guddamu ku Lwokusatu nga 07/05 n’olwokutaano 09/05 n’omutendera ogw’ebibinja mu bisaawe eby’enjawulo nga ekya Ssekabaka Kyabaggu e Wakiso, ekya Lubiri SS, Kawanda SS n’ebirala.

Ono era ategeezeza nti wajja kubaawo n’emizannyo emirala; egya 7 aside mu basajja abasukka emyaka 35 ne baana wansi w’emyaka 12, n’emizannyo omuli omweso, ekigwo n’emirala nagyo gyakuzanyibwa ku mitendera gy’Ebika.
Minisita Serwanga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okuwa buli muntu omukisa okwolesa ekitone kye, bwe yasiima wabeewo emizannyo egy’enjawulo mu Bika okwawukanako ne bwe kibadde emabega nga waliwo kubaka na mupiira gwa bigere gwokka.
Mu bivudde e Wankulukuku, wasoosewo okubaka;
Oluzannya oluddirira olw’akamalirizo;
Mmamba Namakaka 22:21 Ŋŋonge
Ngeye 22:25 Nnyonyi Nnyange
Oluzannya lw’okulondako akwata eky’okusatu
Ngeye 25:22 Ŋŋonge
Oluzannya olw’akamalirizoNnyonyi Nnyange 32:27 Mmamba Namakaka.
Mu gw’ebigere oguggudewo
Ngabi Nnyunga 1:1 Kasimba
